ESSUUBI OKUZZIBWAMU AMAANYI OLWALEERO | EBISUUBIZO N’OKUKAKASIBWA KU LWA BULI MBEERA
EKITABO
Ekyama ky’okuzuula
AMAANYI Ebintu bwe bibeera ebizibu [p25]
OLUGENDO ENNYIMBA EZA DDALA
okuva eri abantu aba ddala
n’engeri gye baasanga essuubi [p7] LU GA NDA
olwewuunyisa
OLUJJA OKUKYUSA OBULAMU BWO [p49]
TUNULA WAGGULU TOLI WEKKA MU KINO [p38]
EKIFO EKISINGA OKUBAAMU OBUKUUMI
OBULAMU BWE BUBA N’ENTIISA [p33]
ZABBULI 23 1
MUKAMA ye musumba wange, sseetaagenga. 2 Angalamiza mu ddundiro ery’omuddo omuto. Antwala ku mabbali ag’amazzi amateefu. 3
Akomyawo emmeeme yange:
Annuŋŋamya mu makubo ag’obutuukirivu ku lw’erinnya lye.
4
Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe,
Siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa. 5
Onteekerateekera ekijjulo nga abalabe bange balaba. Onsiize amafuta ku mutwe, ekikopo kyange kibooze. 6 Obulungi n’ekisa kyo binaabanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange. Nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama emirembe gyonna.
ZABBULI 107 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N’abaggya mu kweraliikirira kwabwe. 28
Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka.
29
Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N’alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu. 30
hopemagazine@sharewordglobal.com www.sharewordglobal.com Omuwandiisi Dayirekita Omuyiiya Omuwi w’amagezi Omukugu mu Kutereeza Ekitabo Avunaanyizibwa ku Bifaananyi
Peter Marshall Kelvin Warkentin Paul Dunk Janette Drost Janette Drost Dennis Drost Scott deVries iStockPhoto Avunaanyizibwa Okuvvuunula Pastor Lubowa George William mu Luganda
Ebikwata ku ShareWord Global Okuyaayaana kwaffe mu Share Word Global kwe kubuulira enjiri ya Yesu Kristo abantu okwetooloola wonna mu nsi n’okubawa omukisa okuwulira oba okusoma Ekigambo kya Katonda ku lwabwe. Tubadde tukola kino okumala emyaka egisukka mu 100, okutandikira mu Canada n’okweyongerayo mu mawanga ag’enjawulo wonna mu nsi. Tukolaganira wamu nnyo n’amakanisa ag’omu bitundu n’obuweereza obulala bwe tufaanaganya emirimu okutuukiriza omulimu gwaffe mu nkola ez’amagezi. Nga tutegeka Abakulistaayo n’okutendekebwa mu buweereza bw’okubuulira enjiri ne kkopi z’Ekigambo kya Katonda, tukkiriza nti bo bajja kuwulira nga baweereddwa nnyo obusobozi okubeera emikono n’ebigere bya Kristo mu bitundu byabwe. Ebyawandiikibwa bye tuwaayo bitegekeddwa okuyamba omusomi okubitegeera mu makulu ge byawandiikirwamu. Leka ebeere Njiri ya Yokaana, akatabo akajjudde ebyawandiikibwa, Endagaano Empya, Baibuli enzijuvu, Baibuli enjogerere oba kkopi eya ddigito ku lw’ekyuma ekitambuzibwa–byonna bitegekeddwa okukwatagana n’omusomi mu nsi ye gy’ali, mu lulimi lw’omutima gwabwe. Twegatteko mu kwanjula abantu okwetooloola wonna mu nsi eri Yesu Kristo n’okuteeka kkopi y’Ekigambo kya Katonda mu ngalo zaabwe. Kyalira ekibanja www.sharewordglobal.com okuvumbula engeri gy’oyinza okutegekebwa okubuulira enjiri mu kitundu kyo.
Lugandan Bible © 2018 The Bible Society of Uganda. All Rights Reserved.
ESSUUBI
mu Muyaga
W
Okulindirira si kintu ekisanyusa. Ka kube nga kulindirira linnya lyo okuyitibwa, okulindirira ebbaluwa ey’omugaso okutuuka, oba okulindirira mu lunyiriri oluwanvu okufuna ekintu kye weetaaga–kino kye kintu batono ku ffe kye tunyumirwa okukola. Kyetaagisa obugumiikiriza obw’ekika ekya waggulu, emirundi mingi mu kiseera emitima gyaffe mwe giyaayaanira olw’okuddibwamu okw’amangu. Taata anzaalira omukyala (akubiddwa ekifaananyi waggulu) bwe yatwalibwa mu bwangu mu ddwaliro oluvannyuma lw’okufuna okusannyalala okw’amaanyi, nnawulira obulumi bw’essaawa ze nnalindirira mu kisenge awalindirirwa. Nnakola kyonna kye nnali nsobola okuteeka ebirowoozo byange ku kintu ekirala bwe kityo okulindirira kubeere nga tekulumya nnyo nga bwe kwasooka okukola, wabula tewaaliwo kintu kyonna ekyalabika okunnyamba. Terefayina eyali mu nsonda yali egenda mu maaso okuwa amawulire agaali galabika okuba nga gaali tegakola makulu n’akamu mu kaseera ako. Obutabo obwali ku mmeeza bwaali bujjudde amawulire n’obulango obwali tebulina kye bungasa. N’okutambulatambula n’okudda eno n’eri mu bisenge eby’enjawulo tebyasobola kusirisa obutagumiikiriza obwali mu mutima gwange. Okulindirira kuzibu. Okwefuga kwonna kw’olowooza nti okulina ku bulamu bwo kuba kukuggiddwaako era n’owalirizibwa okuwanika n’okubivaako. Oba osabibwa okwesiga omuntu omulala okugonjoola ekizibu ekiri mu bulamu bwo. Ggwe ogambibwa kutuula butuuzi awo n’okubeera omugumiikiriza–embeera etaliimu buyambi ddala. Nze siri mukugu mu nsonga eno ey’okulindirira, naye mu mbeera ezo mu bulamu bwange mwe nneesangira mu mbeera eno enyigiriza, nneesigama nnyo ku bika
by’ebyawandiikibwa by’ojja okusanga mu kitabo kino. Simanyi olugendo lwo olw’omwoyo lubadde lwa ngeri ki oba kiki ky’okkiriza ku Katonda oba ku Baibuli; ekkubo lya buli muntu liba lya njawulo. Nneesiga, siri wano kukuwa kyakuddamu eky’amangu eri ekyo kyonna ky’osinga okwetaaga mu kiseera kino kyennyini. Wabula waliwo ekintu eky’enjawulo ekirimu ekikwata ku nnyiriri zino okuva mu kitabo eky’edda ennyo ekya Zabbuli bulijjo ekireetera omutima gwange okusiriikirira mu biseera ebyo eby’obuzibu–ne ntunula okusukka obuntu bwange ku lw’okuddibwamu okw’enjawulo. Bingi ku bitontome bino byawandiikibwa abantu abaalina obulamu obwali bujjudde okunyigirizibwa n’embeera embi ennyo okusinga ekintu kyonna nze kye nnali mpiseemu. Obulamu bwabwe bwaali mu buzibu era baali bayaayaana ku lw’obuyambi. Naye mu ngeri emu, wakati mu miyaga egy’amaanyi, ebitontome bino eby’enjawulo bijjudde essuubi. Nandyagadde naawe ofune essuubi eryo lye limu mu kaseera kano ak’okulindirira. Suubira mu Katonda. Suubira mu kumanya nti Ye asobola okukusitula okuva mu kizikiza kyo. Suubira mu kukkiriza nti Ye alina enteekateeka gy’oli– wakati mu buzibu obulumbaganye obulamu bwo. Eri nze ne mukyala wange, lyaali ssuubi lino ery’omwoyo eryatuyisa mu bulumi bwa taata eyali anzaalira omukyala okuba nga teyawona bulwadde buno obw’okusannyalala. Twekwata ku nnyiriri eziri mu kitabo kino nga bwe twakungubaga olw’okufa kwe, nga tukkiriza nti Omutonzi waffe era Katonda waffe yali afuga mu buli mbeera gye twang’anga. Toli wekka. Jjukira nti nga bw’olindirira. Nga bw’osaba. Nga bw’osuubira.
MUKAMA YE MUSUMBA WANGE EKIDDUKIRO KYANGE ERA ENGABO YANGE OKUNNEETOOLOOLA OYO ANDOKOLA OMUKUUMI WANGE ERA YE GE MAANYI GANGE ERA
ZABBULI
A
Ekitabo kino kye kikwatako Bw’oba nga wali oyagaddeko okuba omwesimbu ne Katonda n’okumugamba ngeri ki ddala gy’owulira ku bikwata ku ekyo ekigenda mu maaso mu bulamu bwo, ojja kwagala Zabbuli zino. Zabbuli zino bye bigambo by’essuubi ebiva ku ntobo y’omutima ebyogerwa wakati mu bulumi. Zikwata ku bantu aba ddala abalina ebizibu ebya ddala abo abeesigamye ku Katonda abantu abalala bonna mu nsi nga balabika okuba nga babalese. Zabbuli zino bye bigambo eby’okutontoma eby’abantu abeesiga ennyo Katonda nga emitima gyabwe gijjudde obutaba na ssuubi. Ekitabo kya Zabbuli eky’amazima ddala kye kitabo ky’ennyimba eky’emirembe egy’edda ennyo ekyawandiikibwa mu bbanga lya myaka lukumi nga kyawandiikibwa abantu abawerako, era mu abo mwe mwali ne Kabaka Dawudi owa Isiraeri. Ebitontome bino, ebyayiiyizibwa mu nnyimba, byejjukanyizibwa era ne bikung’anyizibwa mu myaka egyo gyonna okutuusa mu nkomerero ya byonna lwe byawandiikibwa era mu nkomerero ya byonna ne bisengekebwa mu bibinja bya zabbuli zonna ze tulina leero. Zabbuli zonna ez’enjawulo za buntu, ebigambo eby’obulumi eby’abantu bye baayogera okusinziira bwe baali bawulira munda mu bo. Olabika nga ojja kuzisanga nga zeefanaanyiriza
ddala, era nga bw’osoma ezimu ku zo ojja kuwulira nga omuwandiisi akyogerera ddala nga naawe bw’okiwulira. Tusuubira nti ojja kuvumbula engeri empya ey’essuubi nga bw’ozisoma, n’endaba empya ku mulimu gwa Katonda mu bulamu bwo. Ye ayagala okukukulembera, okukukuuma, okukunyweza, n’okusinga byonna okukwagala. Ekisinga obulungi mu byonna, nnyingi ku Zabbuli zino zijjukiza bisuubizo bya Katonda bye yakola edda. Waliwo okusanyusibwa mu kumanya nti nga bwe tugoberera okukulembera Kwe mu bulamu bwaffe, Ye ajja kutulaga ekkubo. Nga bwe kigamba mu Zabbuli 119 olunyiriri 114 (olupapula 37), nti Ekigambo Kyo ye nsibuko y’essuubi lyange. Zabbuli eziwandiikiddwa mu kitabo kino kyakulabirako kyokka ekya Zabbuli 150 eziri mu Baibuli. Tulondobyemu ennyiriri ku lulwo ezikwatagana n’omutwe ogw’awamu ogwa okuwa essuubi wakati mu mbeera esoomooza. Emitwe emirala gy’oyinza okuvumbula mu kitundu ekisigadde eky’ekitabo mwe mwandibadde okukuba ebiwoobe okw’okukungubaga, okutendereza, amagezi, okwebaza n’okusinza. Empapula zino wammanga zirimu ebitundu by’Ebyawandiikibwa ebirondeddwaamu okuva mu Ndagaano Enkadde n’Endagaano Empya. Baibuli enzijuvu weeri nga ya buwa okugissa ku Anduloyidi, iOS n’ekyuma kya Blackberry. Twaala app ey’ObulamuObuggya (NewLife app) ku kyuma kyo leero ku www.newlife.bible.
8
ZABURI
ESSUUBI
sharewordglobal.com
ZABBULI 3 Naye ggwe, Ayi Mukama, oli ngabo enkuuma. Gwe Kitiibwa kyange, era ampanirira. 3
Nkoowoola Mukama, N’anziramu ng’asinziiraku lusozi lwe olutukuvu. 4
ZABURI
sharewordglobal.com
1
ESSUUBI
9
Wulira ebigambo byange, ayi Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange. 2 Wulira eddoboozi ly’okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange. Kubanga ggwe gw’ensaba. 3 Ayi Mukama, buli nkya onoowuliranga eddoboozi lyange. Buli nkya nnaakusabanga, ne nnindirira ky’onoonziramu.
Naye bonna abakwesiga ggwe basanyuke, Bayimbenga n’essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. 11
N’abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe. 12 Kubanga Ayi Mukama owa omukisa abatuukirivu. Ekisa kyo kibeetooloola ng’engabo.
ZABBULI 5
10
ESSUUBI
ZABURI
sharewordglobal.com
ZABBULI 6
MUKAMA AWULIDDE OKWEGAYIRIRA KWANGE, 9
Mukama akkiriza okusaba kwange.
ZABBULI 8 Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, Omwezi n’emmunyeenye, bye wateekawo, 3
Omuntu kye kiki, ggwe okumulowoozako? Oba omwana w’omuntu, ggwe okumufaako? 4
Ayi Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! 9
7 NNAASANYUKANGA NNAAJAGULIZANGA MU GGWE. 2
Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo. ZABBULI 9
8
14
ESSUUBI
ZABURI
sharewordglobal.com
1
Ayi Katonda, nkuuma, kubanga nneesiga ggwe.
8
Nkulembeza MUKAMA bulijjo. Kubanga andi kumpi, sisagaasagaanenga.
9
Omutima gwange kyeguva gusanyuka n’emmeeme yange n’ejaguza. Nzenna ne mbeera mu mirembe.
ZABBULI 16
ZABURI
sharewordglobal.com
ESSUUBI
15
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola. Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga. 2
Ye ngabo yange, ge maanyi ag’obulokozi bwange, ye yankuuma. 30
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, Ekigambo kya Mukama kya mazima, Oyo ye ngabo y’abo bonna abamwesiga.
ZABBULI 18 Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, 8
okusanyusa omutima. Ekiragiro kya Mukama kitukuvu, kireeta okutegeera.
ZABBULI 19
16
ZABURI
ESSUUBI
24
sharewordglobal.com
Kubanga teyanyooma, oba obutamufaako oyo ali mu buyinike,
Wadde okumukuba amabega. Naye bwe yamukoowoola, n’awulira.
ZABBULI 22 ZABBULI 27 1
Mukama kye kitangaala kyange era ye mulokozi wange, ani gwe nnaatya? Mukama ya nkuuma, ani anankankanya? 14 Lindirira Mukama, Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.
ZABBULI 28 7 Mukama ge maanyi gange era
ye ngabo yange. Omutima gwange gumwesiga, annyamba.
ZABBULI 29 1
Mmwe ab’omu ggulu, Mumutendereze Mukama, 2 Muwe ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira. Mumusinze Mukama mu butuukirivu bwonna. 3 Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi, Katonda ow’ekitiibwa abwatuka, Eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi. 4 Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa. 5 Eddoboozi lya Mukama limenya emivule, Mukama amenyaamenya emivule gy’omu Lebanooni. 6 Ensozi z’omu Lebanooni azizinyisa ng’ennyana, Olusozi Siriyooni ne luzina ng’embogo ento. 7 Eddoboozi lya Mukama livaamu ennimi ez’omuliro. 8 Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi. 9 Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amakoola g’amabira. Era mu Yeekaalu ye buli kintu kyogera nti, “Ekitiibwa.” 10
Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna. 11 Mukama awa abantu be amaanyi. Mukama omukisa gw’awa abantu be gye mirembe.
ZABBULI 30 Ofudde okunakuwala kwange okuzina. Onzigyeko obuyinike, n’onzijuza essanyu. 11
N’olw’ekyo, nnaayimbanga okukutendereza, siisirikenga, Ayi Mukama Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna. 12
ZABBULI 31 24
Muddemu amaanyi, mugume omwoyo,
Mwenna abalina essuubi mu Mukama.
ZABBULI 33 20 Tulindirira Mukama,
Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.
21 Tusanyukira mu ye,
Kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
Okusaasira kwo, ayi Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubirira mu ggwe.
22
ZABBULI 34 Nneebazanga Mukama mu biro byonna, Nnamutenderezanga bulijjo. 2 Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama, Ababonaabona bawulire basanyuke. 3 Mujje tugulumize Mukama, Tugulumize erinnya lye fenna. 4 Nneegayirira Mukama, n’anziramu, N’andokola mu kutya kwange kwonna. 5 Mumutuunulire, musanyuke, Temulikwatibwa nsonyi n’akatono. 6 Omunaku ono yakoowoola, Mukama n’amuwulira, N’amulokola mu nnaku ze zonna. 7 Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N’abalokola. 8 Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi. Wa mukisa oyo amwesiga. 9 Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be, 1
Kubanga tebabulwa kintu abamutya, Obwana bw’empologoma oluusi bubulwa emmere ne bulumwa enjala; Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna. 11 Mujje, baana bange, mumpulire, Mbayigirize okutya Mukama. 12 Oyagala okunyumirwa obulamu, okuwangaala n’okufuna ebirungi? 13 Ziyizanga olulimi lwo okwogera obubi, N’emimwa gyo obutoogeranga bya bulimba. 14 Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga. 15 Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, Era awulira okukaaba kwabwe. 16 Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi, 10
4
Alaba nti tebajjukirwenga mu nsi. Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n’awulira, N’abalokola mu nnaku zaabwe zonna. 18 Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde. 19 Ebibonoobono eby’omutuukirivu bingi, Naye Mukama amulokola mu byonna. 20 Akuuma amagumba ge gonna, Nekutamenyekako na limu. 21 Obubi bulitta omubi, N’abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango. 22 Mukama anunula abaddu be, So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango. 17
NNEEGAYIRIRA MUKAMA, N’ANZIRAMU,
N’andokola mu kutya kwange kwonna. ZABBULI 34
20
7 ZABURI
ESSUUBI
5
sharewordglobal.com
EKISA KYO, AYI MUKAMA, KITUUKA NE KU GGULU,
Obwesige bwo butuuka ne mu bire. Obutuukirivu bwo buli ng’ensozi engulumivu, Ennamula yo ekka ng’ennyanja ey’eddubi. Ayi Mukama, ggwe owonya abantu n’ebisolo.
6
8
ZABURI
sharewordglobal.com
Ekisa kyo, Ayi Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abantu baddukira gy’oli. 7
ZABBULI 36
ESSUUBI
21
22
YOHANA
ESSUUBI
7
sharewordglobal.com
Weesigenga Mukama, okolenga obulungi, Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa. 4 Essanyu lyo linoonyenga mu Mukama, Naye anaakuwanga omutima gwo bye gwegomba. 5 Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakuyambanga. 6 Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng’omusana, N’oyaka ng’omusana ogw’ettuntu. 3
8
YOHANA
sharewordglobal.com
7
SIRIKA ERI MUKAMA, OMULINDIRIRENGA n’okugumiikiriza.
Naye obulokozi obw’abatuukirivu buva eri Mukama, Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby’okulabiramu ennaku. Era Mukama abayamba, n’abawonya: Abawonya eri ababi, n’abalokola, Kubanga bamweyuna ye. 39
40
ZABBULI 37
ESSUUBI
23
24
ESSUUBI
ZABURI
sharewordglobal.com
Mu bugumikiriza nnalindirira Mukama, Nnantegera okutu, n’awulira okukaaba kwange. 2 Yanzigya mu bunnya obw’okuzikirira, ne mu bitositosi, N’ateeka ebigere byange ku lwazi, n’annyweza nga ntambula. 1
3
Yanjigiriza oluyimba oluggya, olutendereza Katonda waffe. Bangi abaliraba kino ne batya, Ne beesiga Mukama.
ZABBULI 40
ZABURI
sharewordglobal.com
ZABBULI 42 Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi, Bw’etyo n’emmeeme yange bw’ewejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda. 2 Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, omulamu. Ndijja ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda? 3 Amaziga gange ye mmere yange emisana n’ekiro, So nga abantu baŋŋamba obudde okuziba nti, “Katonda wo ali luda wa?” 4 Bino mbijjukira, ne nzijjayo ebiri mu mmeeme yange, Engeri gye nnagenda n’ekibiina ky’abantu, ne mbakulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda, N’eddoboozi ery’essanyu n’ery’okutendereza, ekibiina ekyegendereza ekyekuuma ebijjaguzo. 5 Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange, 6 era Katonda wange. Ayi Katonda wange, 1
ESSUUBI
emmeeme yange yeenyika munda mu nze, Bw’entyo nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yoludaani, Era ne ku nsozi za Kerumooni, ne ku kasozi Mizali, 7 Obuziba bukoowoola obuziba, olw’okubwatuuka kw’ebiyiriro byo; Amayengo go gonna n’amasingiisira go bimpiseeko. 8 Naye Mukama anaalaganga ekisa kye emisana, N’ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange, essaala eri Katonda ow’obulamu bwange. 9 Ne ŋŋamba Katonda olwazi lwange nti, “Kiki ekikunneerabizza?” Lwaki ngenda nga nkaaba olw’okuyiganyizibwa abalabe bange? 10 Ng’ekitala mu magumba gange, njigganyizibwa ebivumo byabwe; Nga bambuuza obutayosa nti, “Katonda wo ali ludda wa?” 11 Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange.
ZABBULI 46 Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku. 1
Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneekyukanga, N’ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw’ennyanja; 3 Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N’ensozi ne bwe zinaakankananga n’okwetabula kwayo okw’amaanyi. 2
25
ZABURI
sharewordglobal.com
ESSUUBI
ZABBULI 56 3
4
8
Buli lwe nnaatyanga, Nneesiganga ggwe.
Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu obuntu bayinza kunkola ki?
Ggwe omanyi ennaku yange; Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko! Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?
26
ZABBULI 62 7 5
Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka; Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva. 6 Ye
yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange; Oyo kye kigo kyange ekiwanvu, sirisagaasagana. 7 Awali Katonda we wali obulokozi bwange n’ekitiibwa kyange; Ejjinja ery’amaanyi gange n’ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mumwanjulirenga byonna ebiri mu mutima gwammwe; Katonda kye kiddukiro gyetuli. 8
8
28
ESSUUBI
ZABURI
sharewordglobal.com
Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa, Atwakizenga amaaso ge; 1
Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna. 3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga. 4 Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw’essanyu, Kubanga osalira abantu emisango n’obwenkanya, 2
Era oluŋŋamya amawanga gonna mu nsi. Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga! 6 Ensi ereese ekyengera kyayo; Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. 7 Katonda anaatuwanga omukisa; N’enkomerero zonna ez’ensi zinaamutyanga! 5
ZABBULI 67 ZABBULI 68 4
Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye; Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; Ya lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge.
Kitaabwe w’abo abatalina bakitaabwe, era omukuumi wa bannamwandu, Oyo ye Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky’atuulamu. 19 Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. 20 Katonda ye Katonda atulokola; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa. 5
1
TUKWEBAZA, AYI KATONDA; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekitalo. ZABBULI 75
30
ESSUUBI
ZABURI
sharewordglobal.com
ZABBULI 84 10
Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez’obubi. 11 Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo, Mukama anaagabanga ekisa n’ekitiibwa; Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza. 12 Ayi Mukama ow’eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.
ZABBULI 85 8
Ka mpulire Katonda Mukama by’anaayogera; Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n’abatukuvu be, Naye baleme okukyama nate mu busirusiru. 9 Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe. 10 Okusaasira n’amazima birabaganye; Obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye. 11 Amazima
galose mu ttaka; N’obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu. 12
Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N’ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo. 13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.
ZABBULI 86 1
Otege okutu kwo, Ayi Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu. 2
Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda. Ayi ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga. 3 Onsaasire, Ayi Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde. 4 Osanyuse emmeeme y’omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, Ayi Mukama. 5
Kubanga ggwe, MUKAMA, oli mulungi,
oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
6
Otege okutu, Ayi Mukama, eri okusaba kwange; Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange. 7 Ku lunaku olw’okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu. 8 Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, Ayi Mukama; So tewali bikolwa ebiri ng’ebibyo. 9 Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, Ayi Mukama; Era galigulumiza erinnya lyo. 10 Kubanga ggwe mukulu, era okola eby’ekitalo, Ggwe Katonda wekka. 11 Onjigirizenga ekkubo lyo, Ayi Mukama; nnaatambuliranga mu mazima go. Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo. 12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
Era naagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna. 13 Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo. 14 Ayi Katonda, ab’amalala bangolokokeddeko, N’ekibiina eky’abatemu banoonyezza emmeeme yange, So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe. 15
Naye ggwe, Ayi Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow’ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n’amazima amangi.
16
Onkyukire, onsaasire; Owe omuddu wo amaanyi go, Olokole omwana w’omuzaana wo. 17 Ondage akabonero olw’obulungi; Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi. Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.
Nnaayimbanga ku kwagala kwa Mukama obutaggwaawo ennaku zonna; N’akamwa kange nnaategeezanga ab’emirembe gyonna obwesigwa bwo. 2 Kubanga njogedde nti okwagala kwo tekuggwaawo emirembe n’emirembe; N’obwesigwa bwo bunywevu mu ggulu. 1
Eggulu liryo, era n’ensi yiyo, Ebintu byonna n’okujjula kwabyo wabiteekawo.
11
Obukiikakkono n’obwa ddyo gwe wa butonda, Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo. 13 Olina omukono ogw’amaanyi. Engalo zo za maanyi, n’omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa. 12
Obutuukirivu n’omusango bye binyweza entebe yo; Okusaasira n’amazima bikulembera amaaso go.
14
Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery’essanyu; Ayi Mukama, batambulira mu musana gw’amaaso go. 16 Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde; Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo. 17 Kubanga ggwe oli kitiibwa ky’amaanyi gaabwe; N’olw’ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga. 18 Kubanga Mukama ye nannyini ngabo yaffe; Era Omutukuvu wa Isiraeri ye nannyini kabaka waffe. 15
ZABBULI 89
1 Oyo
atuula mu kifo eky’oyo ali waggulu ennyo, Anaabeeranga wansi w’ekisiikirize eky’Omuyinza w’ebintu byonna. Nnaayongeranga ku Mukama nti, “Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.” 3 Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw’oyo akuyigga, Ne mu kawumpuli omubi. 4 Anaakubikkangako n’ebiwaawaatiro bye, Era wansi w’ebyoya bye w’onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma. 5 Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akakulumba emisana; 6 Olw’olumbe oluttira mu kizikiza, Newakubadde olw’okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu. 7 Abantu olukumi (1,000) baligwa ne battibwa ku lubiriizi lwo, Era omutwalo (10,000) ne bagwa ku mukono gwo ogwa ddyo; Naye ggwe okuzikirira tekulikusemberera. 8 Naye olitunula n’amaaso go, Oliraba empeera y’ababi. 9 Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli kiddukiro kyange! Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w’otuula; 10 Tewali kabi akalikubaako, So tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo. 11 Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna. 12 Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. 13 Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n’omusota wansi w’ebigere byo. 14 Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange. 15 Alinkaabira, nange ndimuyitaba; Nnaabeeranga wamu naye bw’anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa. 16 Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange. 2
ZABBULI 91
34
ZABURI
ESSUUBI
ZABBULI 103
7
8
Mukama ajjudde okusaasira n’ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. 9 Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna. 10 Tatukoze ng’ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. 11 Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N’okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw’atyo bw’atuggyako ebyonoono byaffe, ne bitubeera wala. 12
13
Nga kitaawe wa baana bw’asaasira abaana be, Ne Mukama bw’asaasira bw’atyo abamutya.
8
sharewordglobal.com
ZABURI
sharewordglobal.com
ESSUUBI
ZABBULI 105 Mumwebazenga Mukama, Mukoowoole erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga. 1
Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by’amagero bye byonna. 2
3
Mwenyumirizenga olw’erinnya lye ettukuvu: Omutima gw’abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
Munoonyenga Mukama n’amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.
4
35
36
ZABURI
ESSUUBI
4
Kubanga okusaasira kwo kutuuka ku ggulu, N’amazima go gatuuka ku bire. 5 Ogulumizibwe, Ayi Katonda, okusinga eggulu; N’ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
Omwagalwa wo alyoke awone, Olokole n’omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu. 6
ZABBULI 108 1
Mutendereze Mukama, mmwe amawanga gonna; Mumugulumize, mmwe abantu bonna.
2
Kubanga okusaasira kwe kungi eri ffe, N’amazima ga Mukama gabeerera emirembe gyonna. Mutendereze Mukama.
ZABBULI 117
sharewordglobal.com
ZABURI
sharewordglobal.com
ESSUUBI
ZABBULI 118 5
Bwe nnali mu nnaku ne nkoowoola MUKAMA;
MUKAMA N’AMPITABA, N’AGIMPONYA.
ZABBULI 119 28
Emmeeme yange esaanuuse olw’okunyiikaala: Ompe amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri. 105 Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange,
N’OMUSANA ERI EKKUBO LYANGE.
37
38
ZABURI
ESSUUBI
sharewordglobal.com
7 Nnaayimusa amaaso gange eri ensozi; Okubeerwa kwange kuliva wa? 2 MOkubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n’ensi. 1
3
HTALIGANYA KIGERE KYO OKUSAGAASAGANA;
Akukuuma taabongootenga.
8
ZABURI
sharewordglobal.com
ESSUUBI
39
Laba, oyo akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga. 5 Mukama ye mukuumi wo; Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo. 6 Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro. 4
Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo. 8 Mukama anaakukuumanga amagenda go n’amadda, Okuva leero n’okutuuka emirembe gyonna. 7
ZABBULI 121
40
ESSUUBI
ZABURI
ZABBULI 125 1
Abeesiga MUKAMA baliŋŋaanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.
Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. 3 Kubanga ababi tebalifuga, mu nsi ya batuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana. 4 Obakolenga ebirungi, Ayi Mukama, abalungi, N’abo abalina emitima egitali gya bukuusa. 5 Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibafulumya wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere mu Isiraeri. 2
sharewordglobal.com
ZABBULI 136 1
Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2
Mumwebaze Katonda wa bakatonda: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3
Mumwebaze Mukama w’abaami: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4
Oyo akola eby’amagero ebikulu yekka: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5
Oyo eyakola eggulu n’amagezi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
6
Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7
Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
8
Enjuba okufuga emisana: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
9
Omwezi n’emmunyeenye okufuga ekiro: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 MUKAMA ALITUUKIRIZA EBYO BY’ANTEEKEDDETEEKEDDE; 8
Okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.
8 ZABBULI 138
ZABBULI 139 Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n’amagezi amangi mu bya wansi eby’ensi. 16 Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n’ekimu. 15
Era n’ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, Ayi Katonda! 17
Bwe bigattibwa awamu,nga bingi! 18
Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu obungi; Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
ZABBULI 142 Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anaambeera; Ekiddukiro kimbuze; tewali n’omu anfaako. 4
5
NNAKUKOOWOOLA GGWE, AYI MUKAMA;
N’ayogera nti, “Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey’abalamu.”
MUKAMA WA KISA AJJUDDE OKUSAASIRA; 8
Alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala okutaggwaawo.
Mukama mulungi eri bonna; N’okusaasira kwe okulungi kubuna byonna bye yatonda. Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, Ayi Mukama; N’abatukuvu bo banaakutenderezanga. 11 Banaayogeranga ku kitiibwa eky’obwakabaka bwo, Banaantegezanga amaanyi go. 12 Okumanyisanga abaana b’abantu ebikolwa bye eby’amaanyi, N’ekitiibwa eky’obukulu obw’obwakabaka bwe. 13 Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N’okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna. 9
10
ZABBULI 145 AWONYA ABALINA EMITIMA EGIMENYESE, 3
Era asiba ebiwundu byabwe.
Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo. 5 Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka. 4
ZABBULI 147
YESU YAGAMBA NTI MUJJE GYE GYE NDI NZE KKUBO N’AMAZIMA N’OMUSANA GW’ENSI OKUTUUKA MU BULAMU OBUTAGGWAAWO KATONDA BW’ATYO
YOKAANA Enjiri ya
Ekitabo Kino Kye Kikwatako Wali weebuuzizzaako oba Yesu Kristo y’ani ddala? Owulidde abantu nga bamwogerako, oba oli awo wali omuyimbyeko ku Ssekukkulu oba ku Mazuukira, era kirabikira ddala wamulabako mu bifaananyi ebisiige oba mu ffirimu. Ebitabo by’ebyafaayo tebirina kubuusabuusa nti Ye mu butuufu yaliwo era n’assa omukka n’aleka omukululo ogw’olubeerera ku nsi kuno. Naye Ye y’ani, eky’amazima ddala? Mu kitabo kino, tutaddemu olugero lwa Yesu nga bwe lwawandiikibwa omu ku basajja abaaliwo era abaatambulanga wamu ne Yesu emyaka egisukka mu nkumi bbiri egiyise.Yokaana yakula ng’omuvubi mu kabuga akatono, naye yamaliriza nga afuuse omu ku bagoberezi ba Yesu abasinga okuba ab’oku lusegere, (abayitibwanga abayigirizwa). Ono yabeeranga ne Yesu okuyita mu mbeera zonna, okutuukira ddala ku nkomerero, era n’awulira n’amatu ge n’okulaba n’amaaso ge ebintu ebyewuunyisa Yesu bye yayogera ne bye yakola mu kiseera ekitono kye yamala ku nsi. Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lwa bino,Yokaana yasalawo okuwandiika ebimu ku bintu ebyewuunyisa bye yalaba. Ekigendererwa kye kwaali kuleetera bantu kukkiriza n’okwolesa nga akakasiza ddala nti Yesu ye Mwana wa Katonda.Ye yayagala abasomi be okumanya nti omuntu yenna
eyandikkirizza mu Yesu yandifunye obulamu obutaggwaawo. Ebyo bigendererwa binene era ndowooza nnene okubirowoozako ng’omuntu omu. Naye nga bw’osoma engero z’obulamu bwa Yesu ezaaliko n’omujulizi nga zibaawo, engero zino zijja kukukomako.Yesu ow’ebyafaayo gw’ojja okusisinkana wa njawulo nnyo okusinga omuntu omulala yenna eyali awandiikiddwaako ebimukwatako.Ye yakolagananga n’abantu mu ngeri ez’enjawulo n’okwogeranga ebigambo eby’ebuziba ennyo ebimukwatako – ebigambo ebiwaliriza buli kinnoomu ku ffe okukola okusalawo okwa kiki Yesu Kristo ky’ali ddala. Bw’oba nga tosomangako ku lugero luno olwa Yesu kampegaano, lusomere ddala okutuusa ku nkomerero. Luno lugendo olw’ekyewuunyo olujja okukyusa obulamu bwo.
Yokaana kitabo kimu kyokka eky’Endagaano Empya, ebiwandiiko ebirung’amiziddwa ebyakung’anyizibwa ebyawandiikibwa ku lw’ekkanisa y’Abakulistaayo eyasooka ne bikuumibwa n’obwegendereza okumala ebbanga eggwanvu. Baibuli enzijuvu weeri mu bujjuvu ng’ogiteeka ku ssimu yo mu ngeri ya buwa, era eyinza okuba Android, iOS ne Blackberry. Tekka apu ya NewLife ey’obuwa ku ssimu yo leero ku kibanja ekiyitibwa www.newlife.bible.
48
ESSUUBI
YOKAANA
sharewordglobal.com
sharewordglobal.com
1
ESSUULA 1 1 Ku
lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda. 2 Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. 3 Ebintu byonna byakolebwa ku bw’oyo; era awataali ye tewaali kintu na kimu ekyakolebwa. 4 Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw’abantu. 5 Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera. 6 Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. 7 Oyo yajja ng’omujulirwa ategeeze eby’omusana, bonna balyoke bakkirize ku bubwe. 8 Oyo si ye musana, wabula omujulirwa ategeeza eby’omusana. 9 Waliwo omusana ogw’amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi. 10 Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. 11 Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. 12 Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye; 13 abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw’omubiri, newakubadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa Katonda. 14 Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeerako gyetuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng’ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng’ajjudde ekisa n’amazima. 15 Yokaana n’amutegeeza ng’ayogerera waggulu nti, “Oyo gwe nnagamba nti ‘Ajja oluvannyuma lwange ansinga nze, kubanga ye yali wa lubereberye ku nze.’ ” 16 Kubanga ku kujjula kwe fenna twaweebwa, ekisa ekyeyongera ku kisa. 17 Kubanga amateeka gaaweebwa nga gayita mu Musa; ekisa n’amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo. 18 Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, abeera mu kifuba kya Kitaffe oyo ye yategeeza bwali. 19 Buno bwe bujulirwa bwa Yokaana bwe yategeeza Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okumubuuza nti, “Ggwe ani?” 20 N’ayatula, n’ateegaana; nnabategeeza nti, “Si nze Kristo.” 21 Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” N’agamba nti, “Si nze
YOKAANA
ESSUUBI
49
Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
YOKAANA 1:5 ye.” “Ggwe nnabbi oli?” N’addamu nti, “Nedda.” 22 Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani? Tulyoke tuddemu abatutumye. Weeyita ani?” 23 Yokaana n’abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly’omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.” 24 Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo. 25 Ne bamubuuza, ne bamugamba nti, “Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?” 26 Yokaana n’abaddamu, ng’agamba nti, “Nze mbatiza na mazzi: wakati mu mmwe wayimiridde omuntu gwe mutamanyi, 27 ajja oluvannyuma lwange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.” 28 Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga. 29 Olunaku olwokubiri Yokaana n’alaba Yesu ng’ajja gy’ali, n’agamba nti, “Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi! 30 Ye wuuyo gwe nnayogerako nti, ‘Emabega wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow’olubereberye ku nze.’ 31 Nange saamumanya: naye nze najja nga mbatiza na mazzi, ye alyoke ayolesebwe eri Isiraeri.” 32 Yokaana n’abategeeza ng’agamba nti, “Nnalaba Omwoyo ng’ava mu ggulu ng’ejjiba; n’abeera ku ye. 33 Nange saamumanya; naye yantuma kubatiza
na mazzi, ye yaŋŋamba nti, ‘Ggw’oliraba Omwoyo ng’akka ng’abeera ku ye, oyo ye abatiza n’Omwoyo Omutukuvu.’ 34 Nange ne ndaba, era mbakakasa nti oyo ye Mwana wa Katonda.” 35 Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n’abamu ku bayigirizwa be babiri; 36 n’atunuulira Yesu ng’atambula, n’agamba nti, “Laba, Omwana gw’endiga owa Katonda!” 37 Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng’ayogera, ne bagoberera Yesu. 38 Yesu n’akyuka n’abalaba nga bamugoberera, n’abagamba nti, “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti, “Labbi” (amakulu gaakyo nti Omuyigiriza), “osula wa?” 39 N’abagamba nti, “Mujje, munaalabawo.” Ne bajja ne balaba w’asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi (10). 40 Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera, ne bamugoberera. 41 Ye n’asooka okulaba muganda we ye Simooni, n’amugamba nti, “Tulabye Kristo,” amakulu gaakyo nti Eyafukibwako amafuta. 42 N’amuleeta eri Yesu. Yesu n’amutunuulira, n’agamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa,” (amakulu gaalyo nti Peetero, eritegeeza nti Olwazi). 43 Olunaku olwaddako Yesu n’asalawo okugenda e Ggaliraaya, n’asanga Firipo,
1:1 1 Yok 1:1,2, Yok 17:5, Kub 19:13 1:2 Nge 8:22 1:3 Bak 1:16,17, Beb 1:2 1:4 Yok 5:26 1:5 Yok 3:19 1:6 Luk 1:13-17,57-80, Mat 3:1, Mak 1:4 1:7 Luk 3:3 1:8 Yok 1:20 1:10 Yok 1:3-5 1:12 Bag 3:26 1:13 Yok 3:5,6 1:14 Is 7:14, 2 Peet 1:16,17, Is 60:1, Luk 9:32 1:15 Yok 1:27,30, Mat 3:11 1:16 Yok 3:34, Bak 1:19 1:17 Bar 6:14; 10:4, Kuv 34:6, Zab 25:10; 40:10; 85:10 1:18 Yok 6:46, 1 Yok 4:12, Mat 11:27, Luk 10:22, 1 Tim 6:16 1:19 Luk 3:15,16,20, Bik 13:25 1:21 Mat 17:10, Ma 18:15, Yok 6:14; 7:40 1:23 Is 40:3, Mat 3:3, Mak 1:3, Luk 3:4 1:25 Mat 21:25 1:26 Mat 3:11, Mak 1:7,8 1:27 Yok 3:26, Bik 13:25 1:28 Mat 3:6,13 1:29 Yok 1:36, Is 53:7 1:30 Yok 1:15,27 1:32 Mat 3:16, Mak 1:10, Luk 3:22 1:33 Luk 3:2, Mat 3:16 1:34 Mat 3:17 1:36 Yok 1:29, Is 53:7 1:40 Mat 4:18-22 1:41 1 Sam 2:10, Zab 2:2 1:42 Mat 16:18, Mak 3:16 1:43 Mat 8:22, Mak 2:14
50
YOKAANA
ESSUUBI
n’amugamba nti, “Ngoberera.” 44 Naye Firipo yali w’e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero. 45 Firipo n’alaba Nassanayiri n’amugamba nti, “Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow’e Nazaaleesi.” 46 Nassanayiri n’amugamba nti, “Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo n’amugamba nti, “Jjangu olabe.” 47 Yesu n’alaba Nassanayiri ng’ajja gy’ali, n’amwogerako nti, “Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!” 48 Nassanayiri n’amugamba nti, “Wantegeerera wa?” Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakuyita, bw’obadde mu mutiini, ne nkulaba.” 49 Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda; ggwe Kabaka wa Isiraeri.” 50 Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? Oliraba ebikulu okukira ebyo.” 51 N’amugamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda
nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’omuntu.”
2
ESSUULA 2 1 Olunaku
olwokusatu, ne waba embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo. 2 Yesu n’abayigirizwa be nabo baali bayitiddwa ku mbaga. 3 Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n’amugamba nti, “Tebalina nvinnyo.” 4 Yesu n’amugamba nti, “Omukyala, Onvunaana ki? Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.” 5 Nnyina n’agamba abaweereza nti, “Ky’anaabagamba kyonna, kye mukola.” 6 Waaliwo amasuwa ag’amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw’empisa ey’okutukuza kw’Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu. 7 Yesu n’abagamba nti, “Mujjuze amasuwa amazzi.” Ne bagajjuza okutuusa ku migo. 8 N’abagamba nti, “Musene
sharewordglobal.com
kaakano, mutwalire omugabuzi w’embaga.” Ne bamutwalira. 9 Awo omugabuzi w’embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n’atamanya gy’evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w’embaga n’ayita awasizza omugole, 10 n’amugamba nti, “Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n’alyoka assaawo embi; naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.” 11 Kano ke kaboneroYesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky’e Ggaliraaya, n’alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza. 12 Awo oluvannyuma lw’ekyo n’aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n’abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku ntonotono. 13 Okuyitako okw’Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. 14 Mu Yeekaalu n’asangamu abatunda ente n’endiga n’enjibwa, n’abawaanyisa effeeza nga bali ku mirimu gyabwe. 15 Naddira emigwa n’agikozesa nga
1:45 Ma 18:18, Is 7:14; 53:2, Yer 23:5, Ez 34:23 1:46 Yok 7:41,52 1:47 Zab 32:2; 73:1, Lub 25:27 1:49 2 Sam 7:14, Yok 6:69, Zab 2:7, Mat 14:33; 16:16 1:51 Lub 28:12, Mat 4:11, Mak 1:13 2:1 Yok 1:43 2:4 Yok 19:26, Mat 12:48, Mak 1:24 2:6 Mak 7:3,4 2:11 Yok 1:14; 11:40 2:12 Yok 7:3, Mat 4:13 2:14-16 Mat 21:12,13, Mak 11:15-17, Luk 19:45,46
YOKAANA 3:16
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka,
buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”
sharewordglobal.com
YOKAANA
ESSUUBI
51
“Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.” JOHN 3:17 embooko, n’abagoba bonna mu Yeekaalu, n’agobamu endiga n’ente; n’ayiwa effeeza ez’abawaany isa effeeza, n’av uunika n’emmeeza zaabwe. 16 N’agamba abaali batunda enjiibwa nti, “Muggyeewo ebintu bino; muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya busubuzi.” 17 Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti, “Obuggya bw’ennyumba yo bulindya.” 18 Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Kabonero ki k’otwolesa akakukozesa bino?” 19 Yesu n’addamu n’abagamba nti, “Mumenye Yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.” 20 Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka ana mu mukaaga (46), naawe oligizimbira ennaku ssatu?” 21 Naye yayogera ku Yeekaalu ya mubiri gwe. 22 Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n’ekigambo Yesu kye yayogera. 23 Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe yakola. 24 Naye Yesu n’atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, 25 era yali teyeetaaga muntu yenna okumutegeeza eby’abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.
3
ESSUULA 3
1 Awo waa liwo omu nt u ow’omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, omufuzi mu Bayudaaya. 2 Omusajja oyo n’ajja eri Yesu ekiro, n’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw’okola ggwe, wabula nga Katonda ali naye.” 3 Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” 4 Nikoodemo n’amugamba nti, “Omuntu ayinza atya
okuzaalibwa bw’aba nga mukadde? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina n’azaalibwa omulundi ogwokubiri?” 5 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw’atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 6 Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. 7 Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. 8 Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanyi gy’eva, newakubadde gy’egenda; bw’atyo bw’abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.” 9 Nikoodemo n’addamu n’amugamba nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?” 10 Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Ggwe Omuyigiriza wa Isiraeri, n’ototegeera ebyo? 11 Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. 12 Bwe mbabuulidde eby’ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w’omuntu. 14 Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’omuntu kimugwanira okuwanikibwa: 15 buli muntu yenna amukkiriza abeere n’obulamu obutagg waawo mu ye.” 16 “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo. 17 Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. 18 Amukkiriza tegumusinga; atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. 19 Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. 20 Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme
okunenyezebwa. 21 Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.” 22 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’ajja n’abayigirizwa be mu nsi y’e Buyudaaya; n’alwayo nabo, n’abatiza. 23 Naye Yokaana yali ng’abatiriza mu Enoni kumpi n’e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi; ne bajjanga, ne babatizibwanga. 24 Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera. 25 Abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ne baba n’empaka, mu bigambo eby’okutukuza. 26 Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti, “Labbi oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n’abantu bonna bagenda gy’ali.” 27 Yokaana n’addamu n’agamba nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu kyonna wabula ng’akiweereddwa okuva mu ggulu. 28 Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera. 29 Alina omugole ye awasa; naye mukwano gw’oyo awasa, ayimirira ng’amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza; kale essanyu lyange eryo lituukiridde. 30 Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.” 31 Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow’omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi, ava mu ggulu ye afuga byonna. 32 Kye yalaba era kye yawulira ky’ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. 33 Akkiriza okutegeeza kwe, ng’ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. 34 Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda; kubanga Katonda amuwa Omwoyo we omujjuvu. 35 Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. 36 Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.
4
ESSUULA 4
1 Awo Mukama waffe Yesu bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti ayigiriza era
2:16 Luk 2:49 2:17 Zab 69:9 2:18 Mat 21:23, Yok 3:2 2:19 Mat 26:61; 27:40 2:21 1 Kol 6:19 2:25 Mak 2:8 3:1 Yok 7:50; 19:39 3:2 Mat 22:16 3:3 Mat 19:3, Luk 17:21, 1 Peet 1:23 3:5 Ez 36:25-27, Bef 5:26, Tit 3:5 3:6 Yok 1:13, Lub 5:3, Zab 51:5 3:8 Mak 4:41, Mub 11:5 3:11 Yok 7:16; 8:26,28; 12:49 3:12 Luk 22:67 3:13 Nge 30:4, Bef 4:9 3:14 Kubal 21:8,9 3:16 Bar 5:8; 8:32, 1 Yok 4:9 3:17 Yok 5:22; 12:47, Luk 19:10, Bik 17:31 3:18 Yok 3:36; 5:24 3:19 Yok 1:5,9-11; 12:48 3:20 Bef 5:13 3:22 Yok 4:1,2 3:23 Mat 4:12 3:24 Mat 14:3 3:26 Yok 1:26-34 3:27 Beb 5:4 3:28 Yok 1:20,23,27, Mak 1:2, Mat 11:10 3:29 Mat 9:15; 22:2 3:30 2 Sam 3:1 3:34 Yok 1:33,34 3:35 Yok 5:20; 17:2, Mat 11:27 3:36 Yok 3:18, Luk 3:7, 1 Yok 5:12 4:1 Yok 3:22,26
52
YOKAANA
ESSUUBI
abatiza bangi okusinga Yokaana, 2 (naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be), 3 n’ava mu Buyudaaya, n’addayo e Ggaliraaya. 4 Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya. 5 Awo n’atuuka mu kibuga eky’e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu. 6 Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olw’olugendo, n’amala gatuula awo ku luzzi, obudde zaali nga ssaawa mukaaga. 7 Omukazi Omusamaliya n’ajja okusena amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” 8 Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 9 Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya nze omukazi Omusamaliya amazzi okunywa?” (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya). 10 Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n’oyo akugamba nti Mpa nnywe bw’ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.” 11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kya kusenya, n’oluzzi luwanvu; kale oggya wa amazzi ago amalamu? 12 Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”
13 Yesu
sharewordglobal.com
n’addamu n’amugamba nti, “Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate, 14 naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y’amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.” 15 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n’okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okujjanga wano okusena amazzi.” 16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo wano.” 17 Omukazi n’addamu n’amugamba nti, “Sirina baze.” Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde bulungi nti Sirina baze; 18 kubanga walina ba balo bataano, naye gw’olina kaakano si balo; ekyo ky’oyogedde mazima.” 19 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, ndaba nti oli nnabbi. 20 Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.” 21 Yesu n’amugamba nti, “Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi. 22 Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga
obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga. 24 Katonda gwe Mwoyo; n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.” 25 Omukazi n’amugamba nti, “Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta), ye bw’alijja alitubuulira ebigambo byonna.” 26 Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.” 27 Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n’omukazi, naye tewali muntu eyabuuza omukazi nti, “Onoonya ki?” Oba eyabuuza Yesu nti, “Kiki ekikwogeza naye?” 28 Awo omukazi n’aleka ensuwa ye, n’agenda mu kibuga, n’abuulira abantu nti, 29 “Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna; ayinza okuba nga ye Kristo?” 30 Ne bava mu kibuga, ne bagenda Yesu gye yali. 31 Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti, “Labbi, lya ku mmere.” 32 Naye n’abagamba nti, “Nnina eky’okulya kye ndya kye mutamanyi.” 33 Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti,
4:2 1 Kol 1:17 4:4 Luk 9:52 4:5 Lub 48:22, Yos 24:32 4:9 Luk 9:53 4:10 Yok 7:38,39 4:13 Yok 6:58 4:14 Yok 6:27,35, Yok 7:37-39 4:19 1 Kol 14:24,25, Yok 9:17 4:20 Ma 12:5, Zab 122:1-9 4:21 Mak 14:58 4:22 2 Bassek 17:29-41, Is 2:3 4:24 Bar 12:1, 2 Kol 3:17 4:25 Yok 1:41 4:26 Yok 9:37; 10:25 4:32 Yok 4:34
“...naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y’amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
YOKAANA 4:14
YOKAANA
sharewordglobal.com
“Waliwo omuntu amuleetedde eky’okulya?” 34 Yesu n’abagamba nti, “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe. 35 Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbaga mba nt i Muy i muse a maaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa. 36 Akungula aweebwa empeera, n’akuŋŋaanya ebibala olw’obulamu obutaggwaawo; asiga n’akungula basanyukire wamu. 37 Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky’amazima nti, ‘Asiga mulala,
Ggaliraaya, n’ajja gy’ali, n’amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng’agenda kufa. 48 Awo Yesu n’amugamba nti, “Bwe mutaliraba bubonero n’eby’amagero temulikkiriza n’akatono.” 49 Omukungu n’amugamba nti, “Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.” 50 Yesu n’amugamba nti, “Genda; omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n’akkiriza ekigambo Yesu ky’amugambye, n’agenda. 51 Bwe yali ng’akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.” 52 Awo n’ababuuliriza essaawa mwe
ESSUUBI
53
n’ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n’amugamba nti, “Oyagala okuba omulamu?” 7 Omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera, nze we njijira, omulala ng’ansoose okukkamu.” 8 Yesu n’amugamba nti, “Golokoka, weetik ke ek itanda kyo, otambule.” 9 Amangu ago omuntu n’aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n’atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti. 10 Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti, “Leero ssabbiiti,
...ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n’okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w’ensi.” YOKAANA 4:42 n’akungula mulala.’ 38 Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera; abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.” 39 Ab’omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw’ekigambo ky’omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna. 40 Awo Abasamaliya bwe baatuuka w’ali ne bamwegayirira abeere nabo; n’asulayo ennaku bbiri. 41 Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw’ekigambo kye, 42 ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n’okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w’ensi.” 43 Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n’avaayo n’agenda e Ggaliraaya. 44 Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti, “Nnabbi mu nsi y’ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.” 45 Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga, kubanga nabo baagenda ku mbaga. 46 Awo n’ajja nate e Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu. 47 Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng’atuuse e
yassuukidde. Awo ne bamugamba nti, “Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.” 53 Awo kitaawe n’ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n’akkiriza n’ennyumba ye yonna. 54 Kano ke kabonero ak’okubiri Yesu ke yakola ng’akomyewo e Buyudaaya okuva e Ggaliraaya.
5
ESSUULA 5
1 Oluva nny uma lw’ebyo ne waba embaga y’Abayudaaya; Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. 2 Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw’endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano. 3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b’amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba: 4 kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n’abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okukkamu, ng’amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe yabanga nabwo.] 5 Waaliwo omuntu eyali n’endwadde nga yaakamala emyaka asatu mu munaana (38). 6 Yesu bwe yalaba oyo ng’agalamidde,
4:34 Yok 17:4 4:35 Mat 9:37, Luk 10:2 4:37 Mi 6:15 4:42 1 Yok 4:14 4:43 Mat 4:12 1 Kol 1:22 4:51 Mat 8:6 4:53 Luk 19:9, Bik 16:15,31 4:54 Yok 2:11,23 5:8 Mat 9:6 7:30; 10:33 5:19 Yok 3:11,32 5:20 Yok 3:35
kya muzizo ggwe okwetikka ekitanda k yo.” 11 Naye n’abaddamu nti, “Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.” 12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti, Weetikke ekitanda kyo otambule?” 13 Naye eyawonyezebwa yali tamanyi Yesu, kubanga Yesu yali amaze okugenda, ate nga abantu abaali mu kifo kiri nga bangi. 14 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Laba, oli mulamu; toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.” 15 Omuntu oyo n’agenda n’abuulira Abayudaaya nti, “Yesu ye yamponya.” 16 Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti. 17 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.” 18 Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda. 19 Awo Yesu n’addamu n’abagamba nti,“Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza kukola kintu ku bubwe, bw’atalabira ku Kitaawe ng’akola; kubanga Kitaawe by’akola byonna, n’Omwana by’akola. 20 Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by’akola yennyini; era
4:44 Mat 13:57, Mak 6:4, Luk 4:24 4:45 Yok 2:23 4:46 Yok 2:1,9 4:47 Luk 7:2 4:48 Yok 2:18, 5:9 Yok 9:14 5:10 Yer 17:21, Luk 6:2 5:12 Luk 5:21 5:14 Yok 8:11 5:16 Mat 12:14 5:18 Yok
54
ESSUUBI
YOKAANA
YOKAANA 5:24 Kubanga Kitange n’okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala emisango gyonna;
sharewordglobal.com
alimulaga n’emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye. 21 Kubanga Kitange bw’azuukiza abafu n’abawa obulamu, bw’atyo n’Omwana abawa obulamu bonna b’ayagala okuwa. 22 Kubanga Kitange n’okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala emisango gyonna; 23 bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma. 24 Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n’akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng’avudde mu kufa okutuuka mu bulamu. 25 Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, n’abo abaliwulira baliba balamu. 26 Kuba nga Kitange bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye; 27 era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w’omuntu. 28 Temwewuunya ekyo; kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, 29 ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.” 30 “Nze siy inza ku kola k intu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n’omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. 31 Bwe nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima. 32 Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw’ampaako bwa mazima. 33 Mmwe mwatumira Yokaana ababaka naye n’akakasa amazima. 34 Si lwa kuba njagala obujulirwa bw’omuntu, naye njogera ebyo mmwe mulokoke. 35 Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala okumala ekiseera kitono nga musanyukira mu kitangaala kye. 36 Naye obujulirwa bwe nnina bwe bukulu okusinga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu egyo gyennyini gye nkola, era gye gijulira nga Kitange ye yantuma. 37 Era Kitange eyantuma oyo yajulira ebyange. Eddoboozi lye temuliwulirangako n’akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye. 38 Era n’ekigambo kye tekibeera mu mmwe: 5:22 Dan 7:13,14, Bik 17:31 5:23 Baf 2:10,11, 1 Yok 2:23, Luk 10:16 5:24 Yok 3:16,18; 8:51, 1 Yok 3:14 5:25 Mat 8:22, Bef 2:5,6 5:26 Yok 1:1-4 5:27 Dan 7:10,14, Yok 5:22 5:29 Yok 6:40, Dan 12:2, Mat 16:27 5:30 Yok 5:19; 6:38 5:31 Yok 8:14 5:32 Yok 5:36,37, 1 Yok 5:9 5:33 Yok 1:19-34 5:35 Luk 1:17 5:36 1 Yok 5:9, Yok 1:33; 3:2 5:37 Mat 3:17, Ma 4:12
YOKAANA
sharewordglobal.com
ESSUUBI
55
ng’asemberera eryato; ne batya.
Naye n’abagamba nti, “Nze nzuuno, temutya.”
YOKAANA 6:19,20 kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza. 39 Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n’ebyo bye bitegeeza ebyange; 40 era temwagala kujja gye ndi okubeera n’obulamu. 41 Siweebwa bantu kitiibwa. 42 Naye mbategedde mmwe ng’okwagala kwa Katonda tekubaliimu. 43 Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw’alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza. 44 Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka? 45 Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira. 46 Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga oyo yampandiikako. 47 Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?”
6
ESSUULA 6
1 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’agenda emitala w’ennyanja ey’e Ggaliraaya era eyitibwa ey’e Tiberiya. 2 Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde. 3 Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo n’abayigirizwa be. 4 N’Okuyitako, embaga y’Abayudaaya, kwali
kunaatera okutuuka. 5 Awo Yesu n’ayimusa amaaso, n’alaba ekibiina ekinene nga kijja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?” 6 Yayogera atyo kumukema, ng’amanyi yekka ky’agenda okukola. 7 Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egulibwa dinaali ebibiri (200), teebabune, buli muntu okulyako akatono.” 8 Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 “Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n’ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?” 10 Yesu n’agamba nti, “Mutuuze abantu.” Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, baali ng’enkumi ttaano (5,000). 11 Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza; n’agabira bali abaali abatudde; n’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baayagala. 12 Bwe bakkuta n’agamba abayigirizwa be nti “Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okusigala akantu.” 13 Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n’obukunkumuka obw’emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa. 14 Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti, “Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.” 15 Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n’addayo nate ku lusozi yekka.
16 Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja; 17 ne basaabala mu lyato, baali baw u ng u k a en nya nja ok ugenda e Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gyebali. 18 Ennyanja n’esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta. 19 Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng’abiri mu ttaano (25), oba asatu (30), ne balaba Yesu ng’atambulira ku nnyanja, ng’asemberera eryato; ne batya. 20 Naye n’abagamba nti, “Nze nzuuno, temutya.” 21 Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda. 22 Olunaku olwaddirira, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w’ennyanja, ne balaba nga waliyo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu tasaabadde wamu mu lyato n’abayigirizwa be, naye nga abayigirizwa be bagenze bokka. 23 Naye amaato amalala gaava e Tiberiya ne gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu. 25 Bwe baamusanga emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, ozze ddi wano?” 26 Yesu n’abaddamu n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta.
5:39 Luk 24:27, 2 Tim 3:15-17, 1 Peet 1:11 5:43 Mat 24:5 5:44 Yok 12:43, Mat 23:5-7 5:45 Ma 31:26 5:46 Lub 3:15; 49:10, Ma 18:15 5:47 Yok 5:39 Luk 24:27, 2 Tim 3:15-17, 1 Peet 1:11 5:43 Mat 24:5 5:44 Yok 12:43, Mat 23:5-7 5:45 Ma 31:26 5:46 Lub 3:15; 49:10, Ma 18:15 5:47 Yok 7:19 6:1-15 Mat 14:13-21; 15:32-39, Mak 6:32-44; 8:1-10, Luk 9:10-17 6:4 Yok 2:13; 11:55, Luk 22:1 6:9 2 Bassek 4:42,43 6:14 Ma 18:15 6:15 Yok 18:36 6:16-21 Mat 14:22-33, Mak 6:45-52 6:23 Yok 6:11
56
YOKAANA
ESSUUBI
27 Temukolereranga kya kulya ekiggwaawo,
naye eky’okulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w’omuntu ky’alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.” 28 Awo ne bamugamba nti, “Tukole ki okukola emirimu gya Katonda?” 29 Yesu n’addamu n’abagamba nti, “Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.” 30 Awo ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe, tukukkirize? Okola mulimu ki? 31 Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.” 32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.” 34 Awo ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.” 35 Yesu n’abagamba nti, “Nze mmere ey’obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n’akatono.” 36 Naye n’abagamba nti, “mundabye, era temukkirizza. 37 Buli Kitange gw’ampa, alijja gye ndi; ajja gye ndi sirimugobera bweru n’akatono. 38 Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky’ayagala. 39 Eyantuma ky’ayagala kino mu bonna be yampa aleme
olw’enkomerero. 45 Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n’ayiga, ajja gye ndi. 46 Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange. 47 Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo. 48 Nze mmere ey’obulamu. 49 Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa. 50 Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. 51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw’obulamu bw’ensi.” 52 Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?” 53 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. 54 Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw’enkomerero. 55 Kubanga omubiri gwange kye ky’okulya ddala, n’omusaayi gwange kye ky’okunywa ddala. 56 Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye. 57 Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange
sharewordglobal.com
kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu. 64 Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza.” Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n’agenda okumulyamu olukwe bw’ali. 65 N’agamba nti, “Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.” 66 Ab’oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. 67 Awo Yesu n’agamba ekkumi n’ababiri (12) nti, “Era nammwe mwagala okugenda?” 68 Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebiga mbo eby’obu la mu obutaggwaawo. 69 Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.” 70 Yesu n’abaddamu nti, “Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n’ababiri (12)? Naye omu ku mmwe ye Setaani.” 71 Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newakubadde yali omu ku kkumi n’ababiri (12).
7
ESSUULA 7
1 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’atambula mu Ggaliraaya; kubanga teyayagala
““Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” YOKAANA 6:68 okumbula n’omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw’enkomerero. 40 Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n’amukkiriza abe n’obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.” 41 Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyiza kubanga yagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti, Nnava mu ggulu?” 43 Yesu n’addamu n’abagamba nti, “Temwemulugunya mwekka na mwekka. 44 Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamuwalula; na nge nd imuzuu k iriza ku lu na ku
bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw’atyo andya ye aliba omulamu ku bwange. 58 Eno ye mmere eyava mu ggulu, si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe.” 59 Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng’ayigiriza mu Kaperunawumu. 60 Awo bangi ab’omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?” 61 Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyiza kino, n’abagamba nti, “Kino kibeesittaza? 62 Kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w’omuntu ng’alinnya gye yali olubereberye? 63 Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko
kutambula mu Buy udaaya kubanga Abay udaaya baa li basa la a magezi okumutta. 2 Naye embaga y’Abayudaaya ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. 3 Awo baganda be ne bamugamba nti, “Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirimu gyo gy’okola. 4 Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama, bw’aba ng’ayagala amanyike mu lwatu. Bw’okola ebyo, weeyoleke eri ensi.” 5 Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza. 6 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese. 7 Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu
6:27 Yok 4:14; 5:36, Mat 16:12 6:29 1 Yok 3:23 6:30 Yok 2:18, Mak 8:11 6:31 Kuv 16:13,14, Zab 78:24 6:32 Yok 6:49 6:33 Yok 6:51 6:35 Yok 4:14; 6:48; 7:37 6:36 Yok 6:26,29 6:37 Yok 17:6-8, Mat 11:28 6:38 Yok 4:34, Mat 26:39 6:39 Yok 10:28,29; 17:12 6:40 Yok 5:29; 11:24 6:42 Luk 4:22 6:44 Yok 6:65 6:45 Is 54:13, Yer 31:33,34 6:46 Yok 1:18 6:47 Yok 3:16 6:48 Yok 6:35 6:49 Yok 6:31,32, 1 Kol 10:3,5 6:51 Beb 10:5,10 6:52 Yok 6:60 6:56 Yok 15:4, 1 Yok 3:24; 2:24 6:62 Yok 3:13 6:63 2 Kol 3:6 6:64 Yok 13:11 6:65 Yok 6:44 6:68 Yok 6:63 6:69 Yok 1:49; 11:27, Mat 14:33; 16:16 7:1 Mak 9:30, Luk 9:51 7:2 Leev 23:34 7:3 Yok 2:12, Mat 12:46, Bik 1:14 7:6 Yok 2:4 7:7 Yok 15:18
YOKAANA
sharewordglobal.com
ESSUUBI
57
YOKAANA 7:37
“Omuntu bw’alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.”
g yayo mibi. 8 Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.” 9 Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala e Ggaliraaya. 10 Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n’ayambuka,
si mu lwatu, wabula mu kyama. 11 Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti, “Ali ludda wa?” 12 Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala nga bagamba nti, “Mulungi;” ate abalala nga bagamba nti, “Nedda, naye
7:13 Yok 9:22; 12:42; 19:38 7:15 Mat 13:54, Luk 2:47 7:16 Yok 12:49
akyamya abantu.” 13 Naye olw’okutya Abayudaaya tewaali yamwogerako mu lwatu. 14 Awo mu makkati g’ekiseera eky’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu, n’ayigiriza. 15 Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti, “Ono amanya atya okusoma nga t ay i g i r i z ibw a nga ko? ” 16 Awo Ye su
58
ESSUUBI
YOKAANA
“era mulitegeera amazima,
n’amazima galibafuula ba ddembe.”
YOKAANA 8:32
sharewordglobal.com
n’abaddamu n’agamba nti, “Okuyigiriza k w a n ge si k w a n ge , n aye k w ’ol i eyantuma. 17 Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange. 18 Ayogera eby’amagezi ge, anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky’oyo eyamutuma, oyo aba wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye. 19 Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita?” 20 Ekibiina ne baddamu nti, “Oliko dayimooni, ani asala amagezi okukutta?” 21 Yesu n’addamu n’agamba nti, “Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna ne mwewuunya. 22 Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja) ne ku ssabbiiti mukomola omuntu. 23 Oba ng’omuntu akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okumenyebwa; lwaki munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti? 24 Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.” 25 Awo aba mu ku ba ntu ab ’omu Yerusaalemi ne bagamba nti, “Gwe banoonya okutta si ye wuuno? 26 Naye, laba, ayogera lwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng’ono ye Kristo? 27 Naye ono tumanyi gy’ava; sso nga Kristo bw’alijja, tewali alimanya gy’ava.” 28 Awo Yesu n’ayogerera waggulu mu Yeekaalu ng’ayigiriza n’agamba nti, “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe. 29 Nze mummanyi; kubanga nnava gy’ali, era ye yantuma.” 30 Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. 31 Naye bangi ab’omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti, “Kristo bw’alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?” 32 Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata. 33 Awo Yesu n’agamba nti, “Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy’ali eyantuma. 34 Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.” 35 Awo 7:18 Yok 5:41,44 7:19 Yok 5:16,18,47, Bik 7:53, Bar 2:17-29 7:20 Mak 3:21, Yok 8:48,52; 10:20 7:21 Yok 5:16 7:22 Lub 17:10-12, Leev 12:3 7:23 Yok 5:8 7:24 Yok 8:15 7:25 Yok 7:19 7:27 Yok 7:41 7:29 Mat 11:27 7:30 Yok 8:20; 13:1, Luk 22:53 7:33 Yok 13:33 7:34 Yok 8:21; 13:33; 17:24
YOKAANA
sharewordglobal.com
Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti, “Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani? 36 Kigambo ki ekyo ky’agamba nti, Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.” 37 Naye ku lunaku olw’enkomerero, era olusingira ddala obukulu ku mbaga, Yesu n’ayimirira n’ayogerera waggulu, n’agamba nti, “Omuntu bw’alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. 38 Akkiriza nze, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy’amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.” 39 Ekyo yakyogera ku Mwoyo,
ky’akoze?” 52 Ne baddamu ne bamugamba nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya.” 53 Buli muntu n’addayo eka.
8
ESSUULA 8
1 Naye Yesu n’agenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 2 N’akeera mu makya n’ajja nate mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali; n’atuula, n’abayigiriza. 3 Abawandiisi n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng’ayenda; ne bamussa wakati,
ESSUUBI
59
mazima.” 14 Yesu n’addamu n’abagamba nti, “Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda. 15 Mmwe musala omusango ng’omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango. 16 Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma. 17 Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw’abantu ababiri kwa mazima. 18 Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange.” 19 Awo ne bamugamba
Awo Yesu n’ayogera nabo nate, n’agamba nti, “Nze musana gw’ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n’omusana ogw’obulamu.” YOKAANA 8:12 gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa. 40 Awo ab’omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti, “Mazima, ono ye nnabbi oli.” 41 Abalala ne bagamba nti, “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya? 42 Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?” 43 Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe. 44 Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono. 45 Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti, “Ekibalobedde ki okumuleeta?” 46 Abambowa ne baddamu nti, “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” 47 Awo Abafalisaayo ne babaddamu nt i, “Er a na m mwe aba k ya m i zz a? 48 Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo? 49 Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.” 50 Nikoodemo omu ku bo, era edda eyagenda eri Yesu n’abagamba nti, 51 “Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n’okutegeera
4 ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng’ayenda bamusisinkanirizza. 5 Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo. Kale ggwe oyogera otya ku ye?” 6 Baayogera bati nga bamukema, babe n’ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n’akutama, n’awandiika n’engalo ku ttaka. 7 Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n’abagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.” 8 N’akutama nate, n’awandiika n’engalo ku ttaka. 9 Nabo bwe baawulira ekigambo ekyo ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b’enkomerero; Yesu n’asigalawo yekka, n’omukazi we yali wakati. 10 Yesu ne yeegolola, n’amugamba nti, “Omukyala, bazze wa? Tewali asaze kukusinga?” 11 Naye n’agamba nti, “Mpaawo muntu, Mukama wange.” Yesu n’agamba nti, “Nange sisala kukusinga, genda; okuva leero toyonoonanga lwa kubiri.” 12 Awo Yesu n’ayogera nabo nate, n’agamba nti, “Nze musana gw’ensi: angoberera taatambulirenga mu k izik iza, naye anaabanga n’omusana ogw’obulamu.” 13 Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa
nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’addamu nti, “Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye.” 20 Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu; so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. 21 Awo Yesu n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe; nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo.” 22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta, kubanga agamba nti, Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo?” 23 N’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi; nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba mu nsi muno; nze siri wa mu nsi muno. 24 Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.” 25 Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani?” Yesu n’abagamba nti, “Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye. 26 Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy’ali bye biibyo bye njogera eri ensi.” 27 Tebaategeera ng’abagambye ku Kitaffe. 28 Awo Yesu n’agamba nti, “Bwe mulimala okuwanika
7:37 Yok 4:10,14, Leev 23:36 7:38 Is 44:3; 55:1; 58:11, Ez 47:1,12, Zek 13:1; 14:8, Yo 2:28; 3:18 7:39 Yok 16:7, 2 Kol 3:17 7:40 Yok 6:14, Ma 18:15 7:41 Yok 1:46 7:42 2 Sam 7:12, Mi 5:2, Mat 2:5,6; 22:42, Zab 89:3 7:43 Yok 9:16 7:44 Yok 7:30 7:45 Yok 7:32 7:46 Mat 7:28,29 7:48 Yok 12:42 7:50 Yok 3:1,2 7:51 Ma 1:16,17; 19:15 7:52 Yok 1:46; 7:41 8:1 Luk 21:37 8:5 Leev 20:10, Ma 22:22-24 8:6 Mat 22:15 8:9 Mat 22:22, Bar 2:22 8:11 Yok 5:14 8:12 Is 49:6, Yok 1:5,9; 12:46 8:14 Yok 5:31 8:15 Yok 7:24; 12:47 8:16 Yok 8:29 8:17 Ma 17:6; 19:15 8:18 Yok 14:7 8:20 Yok 7:30; 13:1, Luk 22:53 8:21 Yok 7:35 8:22 Yok 7:35 8:23 Yok 3:31 8:25 Yok 8:14 8:26 Yok 8:38; 12:49 8:28 Yok 3:14; 12:32
60
ESSUUBI
Omwana w’omuntu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo. 29 N’oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by’asiima.” 30 Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza. 31 Awo Yesu n’agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; 32 era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” 33 Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna; oyogera otya ggwe nti, Mulifuuka ba ddembe?” 34 Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba
YOKAANA okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba. 45 Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza. 46 Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza? 47 Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda: mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda.” 48 Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni?” 49 Yesu n’addamu nti, “Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe
sharewordglobal.com
9
ESSUULA 9
1 Yesu bwe yali ng’ayitawo, n’alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 2 Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?” 3 Yesu n’addamu nti, “Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4 Ffe kitugwanira okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw’atayinziza kukolera. 5 Bwe mba
Ye n’addamu nti, “Oba ng’alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.” YOKAANA 9:25
nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w’ekibi. 35 Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n’emirembe. 36 Kale Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, muliba ba ddembe ddala. 37 Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe. 38 Nze njogera bye nnalaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe.” 39 Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ibulayimu ye kitaffe.” Yesu n’abagamba nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu. 40 Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby’amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw’atyo. 41 Mmwe mukola emirimu gya kitammwe.” Ne bamugamba nti, “Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda.” 42 Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma. 43 Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange. 44 Mmwe muli bakitammwe Setaani, era mwagala okukola
temunzisaamu kitiibwa. 50 Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w’ali anoonya era asala omusango.” 51 Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw’akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n’emirembe 52 Abayudaaya ne bamugamba nti, “Kaakano tutegedde ng’oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti, Omuntu bw’akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n’emirembe. 53 Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Ne bannabbi baafa: weeyita ani?” 54 Yesu n’addamu nti, “Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe: 55 so temumutegeeranga, naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaaba mulimba nga mmwe, era nkwata ekigambo kye. 56 Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n’alulaba n’asanyuka.” 57 Awo Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaba kuweza myaka ataano (50), naye Ibulayimu wamulaba?” 58 Yesu n’abagamba nti, “ Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi.” 59 Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n’afuluma mu Yeekaalu.
mu nsi, ndi musana gwa nsi.” 6 Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka, n’atabula ettaka n’amalusu, n’amusiiga ettaka ku maaso, 7 n’amugamba nti, “Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu” (ekitegeeza nti Eyatumibwa). Awo n’agenda, n’anaaba, n’akomawo ng’alaba. 8 Awo baliraanwa be n’abaamulabanga edda ng’atudde ng’asabiriza, ne bagamba nti, “Si ye wuuno eyatuulanga ng’asabiriza?” 9 Abalala ne bagamba nti, “Ye wuuyo,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, naye afaanana naye.” Ye n’agamba nti, “Nze nzuuno.” 10 Awo ne bamugamba nti, “Kale amaaso go gaazibuka gatya?” 11 Ye n’addamu nti, “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n’ansiiga ku maaso, n’aŋŋamba nti, Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.” 12 Ne bamugamba nti, “Ali ludda wa oyo?” N’agamba nti, “Simanyi.” 13 Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli edda eyali omuzibe w’amaaso. 14 Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n’amuzibula amaaso. 15 Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N’abagamba nti, “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.” 16 Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Omuntu oyo si
8:29 Yok 8:16, Mat 27:46 8:30 Yok 7:31; 10:42; 12:11 8:33 Mat 3:9, Nek 9:36 8:34 Bar 6:16,20, 1 Yok 3:8 8:35 Bag 4:30 8:36 Bar 6:18,22 8:53 Yok 4:12 8:55 Yok 7:28 10:31 9:1 Bik 3:2; 14:8 9:2 Luk 13:2, Kuv 20:5 9:3 Yok 11:4 9:4 Yok 5:17,20; 11:9 9:5 Yok 8:12; 12:35 9:6 Mak 8:23 9:14 Yok 5:9 9:16 Yok 3:2; 7:43; 9:31,33
8:59 Yok
sharewordglobal.com
wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti.” Naye abalala ne bagamba nti, “Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano?” Ne wabaawo okwawukana mu bo. 17 Awo ne bamugamba nate omuzibe w’amaaso nti, “Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso?” Naye n’agamba nti, “Ye nnabbi.” 18 Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w’amaaso n’azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b’eyazibula 19 ne bababuuza nga bagamba nti, “Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w’amaaso? kale kaakano alaba atya? ” 20 Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti, “Tumanyi ng’ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso: 21 naye bw’alaba kaakano tetumanyi: so n’eyamuzibula amaaso ffe
YOKAANA
ESSUUBI
tetumanyi bw’ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.” 22 Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okukkaanya nti buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro. 23 Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye. 24 Awo ne bayita omulundi ogwokubiri omuntu oli eyali omuzibe w’amaaso, ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng’omuntu oyo alina ebibi.” 25 Ye n’addamu nti, “Oba ng’alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.” 26 Awo ne bamugamba nti, “Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go?” 27 N’abaddamu nti, “Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira
61
omulundi ogwokubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?” 28 Ne bamuvuma, ne bagamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy’ava.” 30 Omuntu n’addamu n’abagamba nti, “Kino kitalo! mmwe obutamanya gy’ava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso! 31 Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng’akola ky’ayagala, oyo amuwulira. 32 Okuva edda n’edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g’omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33 Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo.” 34 Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe?” Ne bamusindikira ebweru.
9:17 Yok 4:19 9:22 Yok 7:13; 12:42; 16:2 9:24 Yos 7:19 9:31 Is 1:15, Nge 15:29, Bik 10:35 9:33 Yok 9:16 9:34 Yok 9:2, Zab 51:5
“Omubbi tajja wabula okubba, n’okutta, n’okuzikiriza. Nze najja zibe n’obulamu, era zibe nabwo obungi.”
YOKAANA 10:10
62
YOKAANA
ESSUUBI
35 Yesu n’awulira nga bamusindikidde ebweru; n’amulaba n’agamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda?” 36 Ye n’addamu, n’agamba nti, “Mukama wange, ye ani, mmukkirize?” 37 Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo.” 38 Ye n’agamba nti, “Mukama wange, nzikirizza.” N’amusinza. 39 Yesu n’agamba nti, “Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n’abo abalaba babe bazibe b’amaaso.” 40 Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti, “Naffe tuli bazibe b’amaaso?” 41 Yesu n’abagamba nti, “Singa
n’okutta, n’okuzikiriza. Nze najja zibe n’obulamu, era zibe nabwo obungi. 11 Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw’alaba omusege nga gujja, aleka endiga n’adduka, n’omusege guzisikula guzisaasaanya. 13 Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. 14 Nze musumba omulungi: era ntegeera eza nge, n’eza nge zintegeera, 15 nga Kitange bw’antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 Era nnina n’endiga endala
sharewordglobal.com
emirembe n’emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. 29 Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. 30 Nze ne Kitange tuli omu.” 31 Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba. 32 Yesu n’abaddamu nti, “Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nnagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?” 33 Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Olw’omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw’okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.” 34 Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu
Era kaakano mmanyi nga byonna by’onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.” YOKAANA 11:22 mubadde bazibe b’amaaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.”
10
ESSUULA 10
1 Yesu n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi. 2 Naye ayita mu mulyango, ye musumba w’endiga. 3 Oyo omuggazi amuggulirawo; n’endiga zimuwulira eddoboozi: endiga ze aziyita amannya era azifulumya ebweru. 4 Bw’amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n’endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. 5 Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.” 6 Yesu n’abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba. 7 Awo Yesu n’abagamba nate nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw’endiga. 8 Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira. 9 Nze mulyango: omuntu bw’ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro. 10 Omubbi tajja wabula okubba,
ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu. 17 Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate. 18 Tewali abunziggyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw’okubuwaayo, era nnina obuyinza obw’okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nnakiweebwa Kitange.” 19 Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw’ebigambo ebyo. 20 Abamu ku bo bangi ne bagamba nti, “Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?” 21 Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?” 22 Ya l i mba ga e y ’ok ut u k u z a mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo; 23 Yesu n’atambulira mu Yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani. 24 Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti, “Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala.” 25 Yesu n’abaddamu nti, “Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze. 26 Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27 Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; 28 nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula
mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda? 35 Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n’ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba), 36 mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n’amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda? 37 Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. 38 Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.” 39 Ne basala amagezi nate okumukwata: n’ava mu mikono gyabwe. 40 N’agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng’abatiza; n’abeera eyo. 41 Abantu bangi ne bajja gy’ali; ne bagamba nti, “Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bwe yayogera ku ono byali bya mazima.” 42 Bangi abaali eyo ne bamukkiriza.
11
ESSUULA 11
1 Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow’e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali; 2 Malyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta n’amuttaanya ebigere n’enviiri ze; ye yalina
9:37 Yok 4:26; 10:25 9:39 Mat 13:11-15 9:40 Mat 15:14; 23:26 10:5 Yok 10:27 10:6 Yok 16:25 10:7 Zab 118:20, Yok 14:6, Mat 7:13,14 10:8 Yer 23:1,2 10:9 Zab 118:20, Yok 14:6, 1 Kol 2:15 10:11 Zab 23:1, Luk 15:4-7, Is 40:11, Ez 34:11-23; 37:24, Yok 15:13 10:12 Mat 10:16, Bik 20:29, Tit 1:11, 1 Peet 5:2,3 10:14 2 Tim 2:19 10:15 Mat 11:27 10:16 Ez 37:24; 34:23, Yok 11:52, 1 Peet 2:25, Bef 4:5 10:17 Baf 2:8,9 10:18 Yok 5:26; 19:11 10:19 Yok 7:43; 9:16 10:20 Yok 7:20; 8:48, Mak 3:21 10:23 Bik 3:11; 5:12 10:24 Luk 22:67 10:25 Yok 4:26; 5:36; 9:37 10:26 Yok 6:64; 8:45 10:27 Yok 8:47; 10:3,4 10:28 Yok 5:28; 6:39; 17:12; 18:9 10:31 Yok 8:59 10:33 Yok 5:18, Mat 26:65 10:34 Zab 82:6 10:35 Mat 5:17,18 10:36 Yok 5:17-20 10:39 Yok 8:59, Luk 4:30 10:40 Yok 1:28 10:42 Yok 8:30 11:1 Luk 10:38,39 11:2 Yok 12:3
YOKAANA
sharewordglobal.com
ESSUUBI
63
Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu
YOKAANA 11:25
mwannyina Lazaalo eyali alwadde. 3 Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti, “Mukama waffe, laba, gw’oyagala alwadde.” 4 Naye Yesu bwe yawulira, n’agamba nti, “Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw’ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n’ekitiibwa olw’obwo.” 5 Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo. 6 Awo bwe yawulira ng’alwadde, n’ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu. 7 Ate n’alyoka agamba abayigirizwa nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.” 8 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy’oba odda?” 9 Yesu n’addamu nti, “Essaawa ez’emisana si kkumi na bbiri (12)? Omuntu bw’atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw’ensi eno. 10 Naye omuntu bw’atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.” 11 Yayogera bw’ati, n’alyoka abagamba nti, “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.” 12 Awo abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, oba
yeebase, anaazuukuka.” 13 Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo. 14 Awo Yesu n’alyoka ababuulira lwatu nti, “Lazaalo afudde. 15 Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy’ali.” 16 Awo Tomasi ayitibwa Didumo n’agamba bayigirizwa banne nti, “Naffe tugende tufiire wamu naye.” 17 Awo Yesu bwe yatuuka, n’asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano (15); 19 Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwa mwannyinaabwe. 20 Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana: naye Malyamu n’asigala mu nju. 21 Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. 22 Era kaakano mmanyi nga byonna by’onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.” 23 Yesu n’amugamba nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira” 24 Maliza n’amugamba nti,
“Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw’olunaku olw’enkomerero.” 25 Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu: 26 na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Okkiriza ekyo?” 27 Maliza n’amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange: nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.” 28 Bwe yamala okwogera bw’ati, n’agenda, n’ayita muganda we Malyamu kyama, ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29 Naye bwe yawulira, n’agolokoka mangu, n’ajja gy’ali. 30 Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng’akyali mu kifo Maliza kye yamusangamu. 31 Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng’ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo. 32 Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy’ali n’amulaba, n’agwa ku bigere bye, n’amugamba nti, “Mukama wange, singa wali
11:4 Yok 9:3 11:8 Yok 8:59; 10:31 11:9 Yok 9:4,5, 1 Yok 2:10 11:10 Yok 12:35, 1 Yok 2:11 11:11 Mat 9:24, Luk 8:52 11:16 Mak 10:32; 14:31 11:21 Yok 11:3,22 11:24 Yok 5:29; 6:40, Luk 14:14 11:26 Yok 5:24; 8:51 11:27 Yok 6:69 11:30 Yok 11:20 11:32 Yok 11:21
64
ESSUUBI
wano, mwannyinaze teyandifudde.” 33 Awo Yesu bwe yamulaba ng’akaaba, n’Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n’asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, 34 n’agamba nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, jjangu olabe.” 35 Yesu n’akaaba amaziga. 36 Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Laba bw’abadde amwagala.” 37 Naye abamu ku bo ne boogera nti, “Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w’amaaso teyayinza kulobera ono okufa?” 38 Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n’atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng’eteekeddwako ejjinja kungulu. 39 Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Maliza, mwannyina w’oli eyafa, n’amugamba nt i , “ Mu k a m a w a n g e , k a a k a n o awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.” 40 Yesu n’amugamba nti, “Sikugambye
YOKAANA nti Bw’onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” 41 Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n’ayimusa amaaso waggulu, n’ayogera nti, “Kitange, nkwebaza kubanga wampulira. 42 Nange nnamanya ng’ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw’ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.” 43 Bwe yamala okwogera bw’ati, n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene nti, “Lazaalo, fuluma ojje.” 44 Eyali afudde n’afuluma, ng’azingiddwa mu mbugo amagulu n’emikono; n’ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule, mumuleke agende.” 45 Awo bangi ku Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba Yesu ky’akoze, ne bamukkiriza. 46 Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by’akoze.
sharewordglobal.com
47 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti, “Tukole tutya? Kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. 48 Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n’Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n’eggwanga lyaffe.” 49 Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi, 50 so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n’eggwanga lyonna lireme okubula.” 51 Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo; 52 so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana. 53 Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
11:4 Yok 9:3 11:8 Yok 8:59; 10:31 11:9 Yok 9:4,5, 1 Yok 2:10 11:10 Yok 12:35, 1 Yok 2:11 11:11 Mat 9:24, Luk 8:52 11:16 Mak 10:32; 14:31 11:21 Yok 11:3,22 11:24 Yok 5:29; 6:40, Luk 14:14 11:26 Yok 5:24; 8:51 11:27 Yok 6:69 11:30 Yok 11:20 11:32 Yok 11:21
Ddala ddala mbagamba nti Empeke y’eŋŋaano bw’etegwa mu ttaka n’efa, ebeerera awo yokka; naye bw’efa, ebala emmere nnyingi.
YOKAANA 12:24
sharewordglobal.com
54 Awo Yesu n’atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n’avaayo n’agenda mu kifo ekiri okumpi n’eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n’abeera eyo n’abayigirizwa. 55 Naye Okuyitako okw’Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi okwetukuza ng’Okuyitako tekunnatuuka. 56 Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu Yeekaalu, nti, “Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?” 57 Naye bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw’ategeera w’ali, ababuulire balyoke bamukwate.
12
ESSUULA 12
1 2 Awo ne bamufumbirayo emmere ey’ekyeggulo: ne Maliza n’aweereza; naye Lazaalo n’aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere. 3 Awo Malyamu n’addira laatiri ey’amafuta ag’omugavu, ag’omuwendo omungi ennyo, n’agisiiga ku bigere bya Yesu, n’attaanya ebigere bye n’enviiri ze: ennyumba n’ejjula akaloosa ak’amafuta. 4 Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, eyali agenda okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5 “Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali bisatu (300), ne zigabirwa abaavu?” 6 Kale yayogera bw’atyo, si lwa kulumirwa baavu; naye kubanga yali mubbi, ye yakwatanga ensawo, n’atwalanga bye baateekangamu. 7 Awo Yesu n’agamba nti, “Mumuleke agaterekere olunaku lw’okuziikibwa kwange. 8 Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.” 9 Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya ne bategeera nti Yesu ali Bessaniya, ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu. 10 Naye bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Lazaalo; 11 kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaabavangako ne bakkiriza Yesu. 12 Olunaku olwokubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi, 13 ne batwala ensansa ez’enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti, “Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye
YOKAANA Kabaka wa Isiraeri.” 14 Naye Yesu bwe yalaba ennyana y’endogoyi, n’agyebagala; nga bwe kyawandiikibwa nti, 15 “Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw’endogoyi.” 16 Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng’ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo. 17 Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n’amuzuukiza mu bafu, ne babeera abajulirwa bebyo bye yakola. 18 Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako. 19 Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti, “Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.” 20 Naye mu abo abagenda ku mbaga okusinza mwalimu Abayonaani: 21 awo abo ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala okulaba Yesu.” 22 Firipo n’ajja n’abuulira Andereya; Andereya n’ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. 23 Yesu n’abaddamu, n’agamba nti, “Obudde butuuse, Omwana w’omuntu agulumizibwe. 24 Ddala ddala mbagamba nti Empeke y’eŋŋaano bw’etegwa mu ttaka n’efa, ebeerera awo yokka; naye bw’efa, ebala emmere nnyingi. 25 Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 26 Omuntu bw’ampeereza, angobererenga; nange g ye ndi, eyo omuweereza wange naye gy’anaabeeranga: omuntu bw’ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.” 27 “Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunzigya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino. 28 Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti, “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.” 29 Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti, “Kubadde kubwatuka,” abalala ne bagamba nti, “Malayika ayogedde.” 30 Yesu n’addamu n’agamba nti, “Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe. 31 Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32 Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira abantu bonna gye ndi.” 33 Naye yayogera
11:55 2 Byom 30:17, Mak 10:32, Bik 21:24,26 12:1-8 Mat 26:6-13, Mak 14:3-9 12:1 Yok 11:1,43 12:2 Luk 10:40 12:3 Luk 7:38 12:6 Luk 8:3 12:8 Ma 15:11 12:12-19 Mat 21:1-11, Mak 11:1-10, Luk 19:29-40 12:13 Zab 118:25,26 12:14 Zek 9:9 12:16 Yok 7:39 12:19 Yok 11:48 12:20 Yok 7:35; 11:55 12:21 Yok 1:44, Luk 19:3; 23:8 12:24 Bar 14:9, 1 Kol 15:36 12:25 Mat 10:39, Luk 14:26; 17:33 12:26 Yok 14:3; 17:24 12:27 Zab 6:3; 42:5, Mat 26:38 12:28 Yok 1:51; 5:37, Mat 3:17; 17:5 12:29 Luk 22:43 12:30 Yok 11:42 12:31 Yok 14:30; 16:11, Luk 10:18 12:32 Yok 8:28
ESSUUBI
65
YOKAANA 12:44,46 Yesu n’ayogerera waggulu n’agamba nti, “Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.. Nze nzize kuba musana mu nsi,
buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza.”
66
ESSUUBI
YOKAANA
sharewordglobal.com
YOKAANA 14:6
“Nze kkubo, n’amazima n’obulamu:
tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.”
atyo, ng’alaga okufa bwe kuli kw’agenda okufa. 34 Awo ekibiina ne kimuddamu nti, “Ffe twawulira mu mateeka nti Kristo abeereraawo emirembe n’emirembe: naawe kiki ekikugambya nti, Omwana w’omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Oyo Omwana w’omuntu ye ani?” 35 Awo Yesu n’abagamba nti, “Esigaddeyo ebiro bitono ng’omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy’agenda. 36 Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b’omusana.”Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka. 37 Naye newa kubadde nga ya kola obubonero bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza: 38 ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe?”
Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani? 39 Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti 40 Yabaziba amaaso, n’abakakanyaza omutima; Baleme okulaba n’amaaso n’okutegeera n’omutima, Bakyuke, Ndyoke mbawonye. 41 Ebyo Isaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu; era n’amwogerako. 42 Naye bangi ne mu bakulu abaamukkiriza, naye olw’okutya Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro: 43 kubanga baayagala ekitiibwa ky’abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda. 44 Yesu n’ayogerera waggulu n’agamba nti, “Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma. 45 Era alaba nze ng’alabye oli eyantuma. 46 Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu
kizikiza. 47 Naye awulira ebigambo byange, n’atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi. 48 Agaana nze, n’atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw’enkomerero. 49 Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba era n’okwogera. 50 Nange mmanyi ng’ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe y’abiŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera.”
13
ESSUULA 13 1 Naye
embaga ey’Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng’ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu
12:34 Zab 110:4, Is 9:7, Dan 7:14 12:35 Yok 8:12; 9:5; 11:10 12:36 Bef 5:8, Mat 23:39 12:38 Is 53:1, Bar 10:16 12:40 Is 6:9,10, Mat 13:14,15 12:41 Is 6:1, Yok 13:12 12:42 Yok 7:48; 9:22 12:43 Yok 5:44 12:44 Mat 10:40 12:45 Yok 14:9 12:46 Yok 8:12; 12:35 12:47 Yok 3:17; 8:15, Luk 9:56 12:48 Beb 4:12, Kub 19:15 12:50 Yok 8:26,28 13:1 Yok 7:30; 8:20; 15:13, Bag 2:20, 1 Yok 3:16
sharewordglobal.com
nsi, yabaagala okutuusa enkomerero. 2 Bwe baali balya emmere ey’ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe, 3 Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng’adda wa Katonda, 4 n’ava ku mmere, ne yeeggyako omunagiro gwe, n’addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. 5 N’alyoka addira amazzi nagateeka mu kibya, n’atandika okunaaza abayigirizwa ebigere n’okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. 6 Awo n’ajja eri Simooni Peetero. Naye n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere?” 7 Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.” 8 Peetero n’amugamba nti, “tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna.” Yesu n’amuddamu nti, “Bwe ssiikunaaze nga tossa kimu nange.” 9 Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n’emikono n’omutwe.” 10 Yesu n’amugamba nti, “Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna.” 11 Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu. 12 Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n’ayambala engoye ze, n’atuula nate, n’abagamba nti, “Mutegedde kye mbakoze? 13 Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi. 14 Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga e b i g e r e . 15 K u b a n g a m b a w a d d e ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo. 16 Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasinga bukulu oli eyamutuma. 17 Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola. 18 Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye. 19 Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo. 20 Ddala ddala mbagamba nti 13:2 Luk 22:3 13:3 Yok 3:35; 16:28; 17:2 13:4 Mat 11:29; 20:28, Luk 12:37 13:6 1 Peet 5:3 13:8 Yok 13:12 13:10 Yok 15:3 13:11 Yok 6:64,70,71 13:13 Mat 23:8,10 13:14 Luk 22:27, 1 Tim 5:10 13:15 Baf 2:5, Bak 3:13, 1 Peet 2:21 13:16 Mat 10:24 13:17 Mat 7:24, Yak 1:25 13:18 Zab 41:9 13:19 Yok 14:29 13:20 Mat 10:40; 26:21-25, Mak 14:18-21, Luk 22:21-23
YOKAANA 14:27 YOKAANA
ESSUUBI
67
Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng’ensi bw’ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
68
ESSUUBI
Asembeza buli gwe ntuma, ng’asembezza nze: era asembeza nze ng’asembezezza oli eyantuma.” 21 Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n’ayatula, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.” 22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw’ayogeddeko bw’ali. 23 Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku mmere, Yesu gwe yayagalanga. 24 Awo Simooni Peetero n’awenya oyo, n’amugamba nti, “Tubuulire gw’ayogeddeko bw’ali.” 25 Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n’amugamba nti, “Mukama wange, ye ani?” 26 Awo Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo.” Awo bwe yakoza ekitole, n’akitwala, n’akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti. 27 Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n’alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola, kola mangu.” 28 Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza. 29 Abamu baalowooza nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti gula bye twetaaga eby’oku mbaga; oba awe abaavu ekintu. 30 Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro. 31 Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye; 32 era Katonda alimugulumiza mu ye yenny ini, era a ma ng u ago anaamugulumiza. 33 Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano. 34 Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. 35 Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” 36 37 Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.” 38 Yesu n’addamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw’onoonneegaana emirundi esatu.
YOKAANA
14
ESSUULA 14
1 “Omut i ma g wa m mwe teg wera liikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. 2 Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby’okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. 3 Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo. 4 Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.” 5 Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’ogenda; ekkubo tulimanyi tutya?” 6 Yesu n’amugamba nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze. 7 Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.” 8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.” 9 Yesu n’amugamba nti, “Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti tulage Kitaffe? 10 Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw’abeera mu nze akola emirimu gye. 11 Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw’emirimu gyokka. 12 Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. 13 Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.” 15 “Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. 16 Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n’emirembe. 17 Omwoyo ow’amazima: ensi gw’eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe. 18 Siribaleka
sharewordglobal.com
bamulekwa; nkomawo gye muli. 19 Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu. 20 Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe. 21 Alina ebiragiro byange, n’abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga K it a nge, na nge n na a mwa ga la nga , nnaa mu labi k ira nga .” 22 Yuda (ata l i Isukalyoti) n’amugamba nti, “Mukama waffe, kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi?” 23 Yesu n’amuddamu n’amugamba nti, “Omuntu bw’anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy’ali, tunaatuulanga gy’ali. 24 Atanjagala takwata bigambo byange: n’ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.” 25 “Ebigambo ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26 Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba. 27 Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng’ensi bw’ewa, nze bwe mbawa. Omutima g wa m mwe teg wer a l i i k i r i r a nga so tegutyanga. 28 Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu. 29 Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize. 30 Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo; 31 naye ensi etegeerenga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.”
15
ESSUULA 15
1 “Nze muzabbibu ogw’amazima, ne Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo, na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okuba la. 3 Mmwe kaa kano mumaze okuba abalongoofu olw’ekigambo kye mbagambye. 4 Mubeere mu nze, nange
13:21 Yok 12:27 13:23 Yok 19:26; 20:2; 21:7,20 13:27 Yok 13:2 13:29 Yok 12:6 13:32 Yok 12:23; 17:1-5 13:33 Yok 7:33; 8:21 13:34 Yok 15:12,13,17 13:36-38 Mat 26:33-35, Mak 14:2931, Luk 22:31-34 13:36 Yok 7:34; 21:18,19 14:1 Yok 14:27, Mak 11:22 14:3 Yok 12:26; 17:24 14:6 Beb 10:20, Mat 11:27, Yok 11:25, Bar 5:1,2 14:9 Yok 12:45, Beb 1:3, Mat 17:17 14:10 Yok 12:49 14:11 Yok 14:20, Yok 10:25,38 14:12 Mak 16:19,20 14:13 Yok 15:7, Mak 11:24, 1 Yok 5:14 14:14 Yok 16:23,24 14:15 Yok 15:10, 1 Yok 5:3 14:16 Yok 14:26; 15:26; 16:7, 1 Yok 2:1 14:17 Yok 7:39; 16:13, Mat 10:20, Bar 8:26 14:19 Yok 16:16 14:20 Yok 17:21-23 14:21 2 Kol 3:18, 1 Yok 5:3 14:22 Bik 10:41 14:23 Yok 13:34; 14:21, Nge 8:17, Mat 18:20; 28:20, Bef 3:17, 2 Kol 6:16 14:24 Yok 7:16, 1 Yok 2:5 14:26 Yok 14:16, Mat 10:19 14:27 Yok 14:1; 16:23, Baf 4:7 14:28 Yok 14:3,6,18 14:29 Yok 13:19 14:30 Yok 12:31, Bef 2:2 14:31 Yok 10:18, Mat 26:46, Mak 14:42 15:1 Yer 2:21, Zab 80:8 15:2 Mat 15:13
sharewordglobal.com
mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera ku muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. 5 Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 Omuntu bw’atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng’ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya. 7 Bwe mubeera mu nze, n’ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. 8 Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. 9 Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. 10 Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. 11 Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. 12 Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. 13 Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. 15 Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanya mukama we by’akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. 16 Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n’ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga. 17 Mbalagidde bino, mwagalanenga.” 18 “Ensi bw’ebakyawanga mumanye nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. 19 Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. 20 Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjiggannya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n’ekyammwe banaakikwatanga. 21 Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw’erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma. 22 Singa
YOKAANA
ESSUUBI
69
“Ebyo mbibabuulidde, mube n’emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku:
naye mugume; nze mpangudde ensi.”
YOKAANA 16:33
sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw’ekibi kyabwe. 23 Ankyawa nze akyawa ne Kitange. 24 Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange. 25 Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere. 26 Naye Omubeezi bw’alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow’amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange: 27 era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange.”
16
ESSUULA 16
1 “ E b y o m b i b a b u u l i d d e mu l e m e okusittazibwanga. 2 Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng’aweerezza Katonda. 3 N’ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze. 4 Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N’ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.” 5 “Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda
wa? 6 Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7 Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli. 8 Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu, n’olw’omusango; 9 olw’ek ibi, kubanga tebanzikiriza nze; 10 olw’obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate; 11 olw’omusango, kubanga omukulu w’ensi eno asaliddwa omusango. 12 Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano. 13 Naye bw’alijja oyo Omwoyo ow’amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by’anaawuliranga by’anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja. 14 Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n’ababuulira mmwe. 15 Byonna byonna Kitange by’ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n’abuulira mmwe. 16 Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.” 17 Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti, “Kiki kino ky’atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?” 18 Kyebaava bagamba nti,
15:5 1 Kol 12:12,27, 2 Kol 3:5 15:6 Mat 3:10; 13:40 15:7 Mak 11:24 15:8 Mat 5:16 15:10 Yok 8:29; 14:15, 1 Yok 2:4,8 15:11 Yok 17:13 15:12 Yok 13:34, 1 Yok 3:11, Mak 12:30 15:13 Yok 10:12, 1 Yok 3:16 15:14 Yok 8:31, Mat 12:50; 28:20 15:16 Yok 6:70; 13:18 15:18 Yok 7:7, 1 Yok 3:13 15:19 1 Yok 4:5, Yok 17:14, Luk 6:22 15:20 Yok 13:16, Mat 10:24 15:21 Yok 16:3, Mat 5:11; 10:22, Mak 13:13 15:23 Yok 5:23, 1 Yok 2:23, Luk 10:16 15:24 Yok 14:11 15:25 Zab 35:19; 69:4 15:26 Yok 14:26, Luk 24:49 15:27 Luk 1:2, Bik 1:8; 5:32 16:1 Yok 14:29 16:2 Yok 9:22, Mat 5:11; 24:9, Luk 6:22 16:3 Yok 15:21 16:4 Luk 22:53, Yok 17:12 16:5 Yok 7:33 16:7 Yok 14:16 16:8 1 Kol 14:24, Beb 4:12 16:9 Yok 3:18, Bar 1:18 16:10 Bik 5:31, Bar 4:25 16:11 Yok 12:31; 14:30 16:12 1 Kol 3:1 16:13 Yok 14:26, 1 Yok 2:27 16:15 Yok 17:10 16:16 Yok 14:19
70
ESSUUBI
“Kiki kino ky’agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky’agamba.” 19 Yesu n’ategeera nga baagala okumubuuza, n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya mwekka olw’ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba? 20 Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka ssanyu. 21 Omukazi bw’azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw’amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n’emitima gyammwe girisanyuka, n’essanyu lyammwe tewali muntu aliribaggyako. 23 Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange. 24 Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.” 25 “ Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibabuulira ebya Kitange mu lwatu. 26 Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange; 27 kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange. 28 Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.” 29 Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero. 30 Kaakano tumanyi ng’omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda. 31 Yesu n’abaddamu nti“ Kaakano mukkirizza? 32 Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange. 33 Ebyo mbibabuulidde, mube n’emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.”
17
ESSUULA 17
1 Yesu bwe yamala okwogera ebyo; n’ayimusa amaaso ge mu ggulu n’agamba nti, “Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza
YOKAANA Omwana wo, Omwana wo akugulumize, 2 nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo. 3 Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 4 Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza. 5 Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng’ensi tennabaawo. 6 Njolesezza erinnya lyo mu bantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n’obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo. 7 Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe, 8 kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babikkiriza, ne bategeera mazima nga nnava gy’oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9 Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula abo be wampa; kubanga babo; 10 era ebyange byonna bibyo, n’ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo. 11 Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy’oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. 12 Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo; era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w’okubula; ebyawandiikibwa bituukirire. 13 Naye kaakano njija gy’oli; na bino mbyogera mu nsi babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14 Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. 15 Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. 16 Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 17 Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima, 18 Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi. 19 Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima. 20 So sibasabira bano bokka, naye n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe; 21 bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw’oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma. 22 Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; 23 nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n’obaagala bo, nga bwe wanjagala nze. 24 Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange
sharewordglobal.com
kye wampa: kubanga wanjagala nze ng’ensi tennatondebwa. 25 Kitange Omutuukirivu, ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; 26 era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.”
18
ESSUULA 18
1 Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n’agenda omwo ye n’abayigirizwa be. 2 3 Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky’abaserikale n’abaami okuva eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo, n’ajja mu lusuku ng’alina ettabaaza, n’emimuli, n’amafumu. 4 Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n’avaayo n’abagamba nti, “Munoonya ani?” 5 Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunazaaleesi.” Yesu n’abagamba nti, “Nze nzuuno.” Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6 Awo bwe yabagamba nti, “Nze nzuuno,” ne badda emabega ne bagwa wansi. 7 Ate n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne bagamba nti, “Yesu Omunazaaleesi.” 8 Yesu n’addamu nti, “Mbabuulidde nti nze nzuuno; kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende.” 9 Ekigambo kino kyali kituukiriza kye yayogera nti, “Ku abo be wampa saabuzaako n’omu.” 10 Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n’akisowola n’atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amusalako okutu okwa ddyo. N’erinnya ly’omuddu Maluko. 11 Awo Yesu n’agamba Peetero nti, “Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo; ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?” 12 Awo ekitongole ky’abaserikale, n’omwami waabwe omukulu, n’abaweereza b’Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba, 13 ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli. 14 Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu. 15 Simooni Peetero n’omuyigirizwa omula la ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n’ayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu; 16 naye
16:21 Is 26:17 16:22 Is 66:14 16:23 Yok 14:13; 14:20, 1 Yok 5:14, Mat 7:7, Mak 11:24 16:24 Yok 15:11 16:25 Yok 10:6 16:27 Yok 14:21 16:29 Yok 16:25 16:30 Yok 2:25 16:32 Zek 13:7, Mat 26:31,45, Mak 14:27,50, Yok 8:29 17:1 Yok 11:41; 13:1 17:2 Mat 11:27 17:3 1 Yok 5:20, 1 Bas 1:9 17:4 Yok 4:34 17:5 Yok 1:1; 17:24, Baf 2:6 17:6 Yok 17:9, Mat 6:9 17:8 Yok 16:30 17:9 Yok 6:37,44 17:10 Yok 16:15, Luk 15:31 17:12 Yok 6:39, Zab 41:9; 109:8, 2 Bas 2:3 17:13 Yok 15:11 17:14 Yok 15:18, Mat 6:13, Luk 22:32 17:17 Yok 6:63 17:18 Yok 20:21 17:19 Beb 10:10 17:20 Yok 17:9 17:21 Bag 3:28 17:22 Bik 4:32 17:23 1 Kol 10:29; 12:26, Bef 1:4 18:1 Mat 26:36, Mak 14:32, Luk 22:39, 2 Sam 15:23 18:2-11 Mat 26:47-56, Mak 14:43-52, Luk 22:47-53 18:2-11 Luk 21:37 18:4 Yok 19:28 18:9 Yok 17:12 18:11 Mat 26:39 18:12-27 Mat 26:57-75, Mak 14:53-72, Luk 22:54-71 18:14 Yok 11:49,50 18:15 Yok 20:3; 21:20, Bik 3:1
sharewordglobal.com
Peetero n’asigala ng’ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n’afuluma n’ayogera n’omuwala omuggazi w’oluggi, n’ayingiza Peetero. 17 Awo omuwala oyo omuggazi w’oluggi n’agamba Peetero nti, “Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono?” Peetero n’addamu nti, “Nedda siri.” 18 Abaddu n’abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw’amanda; kubanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng’ayimiridde ng’ayota omuliro. 19 Awo k a b on a a si n g a o bu k u lu n’abuuza Yesu ku by’abayigirizwa be, n’eby’okuyigiriza kwe. 20 Yesu n’amuddamu nti, “Nze nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu. 21 Ombuuliza ki? Buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.” 22 Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n’akuba Yesu oluyi n’agamba nti, “Oddamu otyo kabona asinga obukulu?” 23 Yesu n’amuddamu nti, “Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?” 24 Awo Ana n’amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu. 25 Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti, “Naawe oli wa mu bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana n’agamba nti, “Siri waamu.” 26 Omu ku baddu bakabona asinga obukulu ow’ekika ky’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’agamba nti, “Nze saakulabye naye mu lusuku muli?” 27 Peetero ne yeegaana nate; amangu ago enkoko n’ekookolima. 28 Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako. 29 Awo Piraato n’afuluma n’agenda gye baali, n’agamba nti, “Musango ki gwe mulanze omuntu ono?” 30 Ne baddamu ne bamugamba nti, “Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy’oli.” 31 Awo Piraato n’abagamba nti, “Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng’amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;” 32 ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng’alaga okufa kw’agenda okufa bwe kuli.
YOKAANA 33 Awo Piraato n’ayingira nate mu kigango, n’ayita Yesu n’amugamba nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” 34 Yesu n’addamu nti, “Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?” 35 Piraato n’addamu nti, “Nze ndi Muyudaaya? Ab’eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?” 36 Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.” 37 Awo Piraato n’amugamba nti, “Kale ggwe kabaka?” Yesu n’addamu nti, “Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow’amazima awulira eddoboozi lyange.” 38 Piraato n’amugamba nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera ebyo, n’afuluma nate n’agenda awali Abayudaaya, n’abagamba nti, “Siraba musango ku ye. 39 Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kaba ka w’Abay udaaya?” 40 Awo ne bakaayana, ne bagamba nti, “Si ono, wabula Balaba.” N’oyo Balaba yali munyazi.
19
ESSUULA 19
1 Awo Piraato n’alyoka atwala Yesu n’amukuba emiggo. 2 Basserikale ne baluka engule y’amaggwa, ne bagimutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw’effulungu; 3 ne bajja w’ali ne bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” Ne bamukuba empi. 4 Piraato n’afuluma nate ebweru, n’abagamba nti, “Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.” 5 Awo Yesu n’afuluma, ng’atikkiddwa engule ey’amaggwa, era ng’ayambadde n’olugoye olw’effulungu. Piraato n’abagamba nti, “Laba omuntu oyo!” 6 Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Komerera, komerera.” Piraato n’abagamba nti, “Mumutwale mmwe mumukomerere, kubanga nze siraba musango ku ye.” 7 Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka n’olw’etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga
ESSUUBI
71
yeefuula Omwana wa Katonda.” 8 Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya; 9 n’ayingira nate mu kigango, n’agamba Yesu nti, “Oli wa wa?” Naye Yesu n’atamuddamu. 10 Awo Piraato n’amugamba nti, “Toyogera nange? Tomanyi nga nnina obuyinza obw’okukuta, era nnina obuyinza obw’okukukomerera?” 11 Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy’oli kyavudde abeera n’ekibi ekisinga.” 12 Okusookera awo Piraato n’asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Bw’onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.” 13 Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n’afulumya Yesu ebweru, n’atuula ku ntebe ey’emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14 Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N’agamba Abayudaaya nti, “Laba Kabaka wammwe!” 15 Awo bo ne boogerera waggulu nti, “Muggyeewo, muggyeewo mukomerere.” Piraato n’abagamba nti, “Nnaakomerera Kabaka wammwe?” Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka wabula Kayisaali.” 16 Awo Piraato n’alyoka abawa Yesu okumukomerera. Awo ne batwala Yesu: 17 n’afuluma, nga yeetisse yekka omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa. 18 Ne bamukomererera ku musaalaba mu kifo ekyo, era ne bakomerera n’abalala babiri wamu naye, eruuyi n’eruuyi, nga Yesu ali wakati. 19 Ne Piraato n’awandiika ebbaluwa n’agissa ku musalaba, ng’ewandiikiddwa nti, “YESU Omunazaaleesi KABAKA w’Abayudaaya.” 20 Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bag isoma : k uba nga ek i fo k ye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi. 21 Awo bakabona abakulu b’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti Kabaka w’Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w’Abayudaaya.” 22 Piraato n’addamu nti, “Kye mpandiise kye mpandiise.” 23 Awo basseri k a le bwe baa ma la okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale
18:20 Yok 7:14,26, Mat 10:27 18:22 Yok 19:3, Bik 23:2 18:31 Yok 19:6,7 18:32 Yok 12:32,33, Mat 20:19 18:34 Mat 16:13 18:35 Yok 1:11, Mat 21:39 18:37 1 Tim 6:13, Yok 8:47; 10:27 19:1 Mat 27:2,11-30, Mak 15:1-19, Luk 23:1-25 19:3 Yok 18:22 19:7 Yok 5:18; 10:33, Leev 24:16 19:11 Yok 10:18, Bik 2:23 19:12 Bik 17:7 19:15 Yok 19:6 19:16-30 Mat 27:31-50, Mak 15:20-37, Luk 23:26-46
72
YOKAANA
ESSUUBI
Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.
Buli ow’amazima awulira eddoboozi lyange.
YOKAANA 18:37 muteeko; n’ekkanzu ye: n’ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu. 24 Ne bagamba bokka na bokka nti, “Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo,” ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti, “Bagabana ebyambalo byange, Era bakubira akalulu eky’okwambala kyange.” Awo basserikale ne bakola ebyo. 25 Naye awo awali omusaalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene. 26 Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n’omuyigirizwa gwe yali ayagala ng’ayimiridde kumpi, n’agamba nnyina nti, “Omukyala, laba, omwana wo!” 27 Oluvannyuma n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba nnyoko.”Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina eka ewuwe. 28 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuuk irira, olw’okwagala okutuukiriza ebyawandiikibwa, n’agamba nti, “Nnina ennyonta.” 29 Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. 30 Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n’agamba nti, “Kiwedde,” n’akutamya omutwe gwe, n’awaayo omwoyo gwe. 31 Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musaalaba ku lunaku lwa
Ssabbiiti (kubanga olunaku lwa ssabbiiti eyo lwali lukulu) ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko. 32 Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n’omulala eyakomererwa naye: 33 naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng’amaze okufa, ne batamumenya magulu: 34 naye sserikale omu n’amufumita mu mbiriizi ze n’effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. 35 Naye eyalaba n’ategeeza n’okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng’ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize. 36 Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti, “Talimenyebwa ggumba.” 37 Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba gwe baafumita.” 38 Awo oluvannyuma lw’ebyo Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw’okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggya omulambo gwa Yesu ku musaalaba: awo Piraato n’akkiriza. Yusufu n’ajja, n’aggyako omulambo gwa Yesu. 39 Ne Nikoodemo n’ajja (eyasooka okujja gy’ali ekiro), ng’aleese ebitabule eby’envumbo ne akaloosi, obuzito bwabyo laateri nga kikumi (100). 40 Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z’ekitaani wamu n’eby’akaloosa ebyo, ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41 Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu. 42 Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw’Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.
sharewordglobal.com
20
ESSUULA 20
1 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n’ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n’alaba ng’ejjinja liggiddwa ku ntaana. 2 Awo n’adduka n’agenda eri Simooni Peetero, n’eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n’abagamba nti, “Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.” 3 Awo Peetero n’afuluma, n’omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. 4 Ne badduka bombi, naye omuyigirizwa oyo omulala n’ayisa Peetero, n’asooka okutuuka ku ntaana: 5 n’akutama n’alingizaamu, n’alaba engoye z’ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n’atayingira. 6 Awo ne Simooni Peetero n’ajja ng’amugoberera, n’ayingira mu ntaana; n’alaba engoye z’ekitaani nga ziteekeddwa awo, 7 n’ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z’ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali. 8 Awo n’omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n’ayingira, n’alaba n’akkiriza. 9 Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti, “kimugwanira okuzuukira mu bafu.” 10 Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka. 11 Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng’akaaba: awo bwe yali ng’akaaba, n’akutama n’alingiza mu ntaana; 12 n’alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. 13 Abo ne bamugamba nti, “Omukyala, okaabira ki?” N’abagamba nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.” 14 Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akyuka emabega, n’alaba Yesu ng’ayimiridde, n’atamanya nga ye Yesu. 15 Yesu n’amugamba nti, “Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye ng’alowooza nti ye mukuumi w’olusuku, n’amugamba nti, “Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy’omutadde, nange nnaamuggyayo.” 16 Yesu n’amugamba nti, “Malyamu.” N’akyuka n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni;” amakulu gaakyo Muyigiriza. 17 Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange,
19:24 Zab 22:18 19:26 Yok 13:23 19:28 Yok 13:3; 18:4, Zab 22:15 19:29 Zab 69:21 19:31 Ma 21:23 19:36 Kuv 12:46, Kubal 9:12, Zab 34:20 19:37 Zek 12:10, Kub 1:7 19:38-42 Mat 27:57-61, Mak 15:42-47, Luk 23:50-55 19:39 Yok 3:2, Mat 2:11 20:1-18 Mat 28:1-10, Mak 16:1-11, Luk 24:1-12 20:2 Yok 13:23 20:7 Yok 11:44 20:9 1 Kol 15:4, Bik 2:24-32
sharewordglobal.com
obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.” 18 Malyamu Magudaleene n’ajja n’abuulira abayigirizwa nti, “Ndabye Mukama waffe;” era n’abategeeza Mukama by’amugambye. 19 Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo mu kifo abayigirizwa mwe baali, olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja, n’ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 20 Awo bwe yamala okwogera bw’atyo, n’abalaga engalo ze n’embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe. 21 Awo Yesu n’abagamba nate nti, “Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe.” 22 Bwe yamala okwogera ekyo, n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mutoole Omwoyo Omutukuvu: 23 ebibi byabo bonna bye munaasonyiwanga, binaabasonyiyibwanga; ne by’abo be munaasibiranga, nga bibasibiriddwa ddala.” 24 Naye Tomasi omu ku kkumi n’ababiri (12), eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja. 25 Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti, “Tulabye Mukama waffe.” Naye n’abagamba nti, “Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z’enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z’enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n’akatono.” 26 Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng’ali nabo, Yesu n’ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n’ayimirira wakati mu bo n’agamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 27 Awo n’agamba Tomasi nti, “Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n’omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza.” 28 Tomasi n’addamu n’amugamba nti, “Ggwe Mukama wange, era Katonda wange.” 29 Yesu n’amugamba nti, “Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.” 30 Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g’abayigirizwa be, obutawandiikiddwa mu kitabo kino; 31 naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n’obulamu mu linnya lye.
20:17 Beb 2:11,12, Bar 8:29 20:19-23 Mak 16:14-18, Luk 24:36-49 20:20 1 Yok 1:1 20:21 Yok 17:18 20:22 Lub 2:7 20:23 Mat 16:19; 18:18 20:24 Yok 11:16; 14:5 20:25 Yok 19:34 20:26 Yok 20:19 20:28 Yok 1:1 20:29 1 Peet 1:8 20:31 1 Yok 5:13, Bar 1:17 21:2 Yok 1:45 21:4 Yok 20:14, Luk 24:16 21:5 Luk 24:41 21:6 Luk 5:4-7 21:7 Yok 13:23 21:13 Yok 6:11 21:14 Yok 20:19,26 21:15 Yok 1:42 21:16 1 Peet 5:2,4 21:17 Yok 13:38; 16:30 21:18 Mat 16:22; 26:39 21:19 Yok 13:36 21:20 Yok 13:23 21:24 Yok 15:27 21:25 Yok 20:30
YOKAANA
21
ESSUULA 21
1 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja ey’e Tiberiya; yabeeraga bw’ati: 2 Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, n’abaana ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa ba Yesu abalala babiri bonna baali wamu. 3 Simooni Peetero n’abagamba nti, “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu. 4 Naye bwali bukya Yesu n’ayimirira ku ttale: naye abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu. 5 Awo Yesu n’abagamba nti, “Abaana, mulina eky’okuliira?” Ne bamuddamu nti, “Tetulina.” 6 N’abagamba nti, “Musuule obutimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kubuwalula olw’ebyennyanja ebingi. 7 Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n’agamba Peetero nti, “ Ye Mukama waffe.” Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja. 8 Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n’ettale, naye emikono nga bikumi bibiri 200) nga bawalula obutimba obulimu ebyennyanja. 9 Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw’amanda nga guli awo n’ebyennyanja nga biteekeddwako, n’omugaati. 10 Yesu n’abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.” 11 Awo Simooni Peetero n’asaabala, n’awalulira obutimba ku ttale, nga bujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu (153) naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, obutimba tebwakutuka. 12 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti, “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama waffe. 13 Yesu n’ajja, n’addira omugaati, n’abawa, n’ebyennyanja bw’atyo. 14 Guno
ESSUUBI
73
gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng’amaze okuzuukira mu bafu. 15 Awo bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Simooni Peetero nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano?” N’amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N’amugamba nti, “Liisanga abaana b’endiga bange.” 16 N’amugamba nate omulundi ogwokubiri nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” N’amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N’amugamba nti, “Lundanga endiga zange.” 17 N’amugamba omulundi ogwokusatu nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n’anakuwala kubanga amugambye omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” N’amugamba nti, “Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Liisanga endiga zange. 18 Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n’ogenda gy’oyagala yonna: naye bw’olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy’otoyagala.” 19 Yayogera bw’atyo, ng’alaga okufa kw’alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” 20 Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng’agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey’ekyeggulo, n’agamba nti, “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?” 21 Awo Peetero bwe yalaba oyo n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba ki?” 22 Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? Ggwe goberera nze.” 23 Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b’oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?” 24 Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n’awandiika bino; naffe tumanyi ng’okutegeeza kwe kwa mazima. 25 Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.
n’afuluma, nga yeetisse yekka omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa. Ne bamukomererera ku musaalaba mu kifo ekyo, era ne bakomerera n’abalala babiri wamu naye, eruuyi n’eruuyi, nga Yesu ali wakati.
YOKAANA 19:17,18
KATONDA AKWAGALA Katonda tagambye bugambi nti Ye akwagala, wabula alaze engeri gy’akwagala ennyo nga asindika Omwana We okutambulira mu bulamu obutuukiridde ggwe bwe wali tosobola kutambuliramu, n’okufa mu kifo kyo. Kubanga eno ye ngeri Katonda gye yayagala ensi: Ye yawaayo Omwana We omu yekka, bw’atyo buli muntu akkiriza mu ye aleme okubula wabula abe n’obulamu obutaggwaawo. YOKAANA 3:16 BONNA BOONOONYI Katonda atuukiridde era agwanira okuweebwa ekitiibwa, wabula ffe fenna tulemereddwa okutambula nga bwe tulina okutambula. Ffe fenna tuli boonoonyi. Kubanga bonna baayonoona; ffe fenna tetutuuka ku mutindo gwa Katonda ogw’ekitiibwa. ABARUUMI 3:23 Nga Ebyawandiikibwa bwe bigamba nti Tewali mutuukirivu n’omu–tewali wadde n’omu. ABARUUMI 3:10
ENTEGEKA YA KATONDA OKUTULOKOLA Ffe fenna tugwanira okufa n’okusalibwako okuva ku Katonda kubanga twayonoona–naye Katonda yalina entegeka! Ye yatuma Omwana We ng’ekirabo eky’obuwa ku lwaffe, bwe batyo abo bonna abakkiriza ne basembeza Omwana we, basobole okusonyiyibwa! Omwana wa Katonda ye Yesu Kristo, eyaliwo, n’afa, n’azuukizibwa eri obulamu ku lulwo. Katonda yakuteekerawo ekkubo ggwe okusobola okumumanya, era ekkubo lino ye Yesu. Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe. ABARUUMI 6:23 Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya Lye. YOKAANA 1:12 Kubanga nnasooka okubawa mmwe ekyali kisinga obukulu era nange ekyali kyampebwa. Kristo yafa ku lw’ebibi byaffe, ng’ebyawandiikibwa bwe byayogera. Ye yaziikibwa, era nga yazuukizibwa okuva mu bafu ku lunaku olw’okusatu, ng’ebyawandiikibwa bwe byayogera. 1 ABAKKOLINSO 15:3-4
OKWANUKULA KWO Bwe tutegeera nti twayonoona eri Katonda, eddaala eriddako kwe kwetonda. Yatula eri Katonda nti wayonoona mu maaso ge, era weesige nti Katonda akusonyiye era nti ajja kukulokola okuva mu biva mu bibi byo olw’ekyo Omwana We, Yesu, kye yakola. Bwe twatula ebibi byaffe gy’ali, Ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe n’okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. 1 YOKAANA 1:9 Kubanga Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokolebwa. ABARUUMI 10:13
OK WE WA AY O K WA NGE Katonda, mmanyi nti ndi mwonoonyi era nzikiriza nti Omwana Wo, Yesu Kristo, yafa ku lw’ebibi byange ku musalaba era n’azuukizibwa okuva mu bafu ku lwange. Kaakano nkyuka okuva mu bibi byange emirembe n’emirembe, era nzikiriza nti Yesu ye Mukama wange era Omulokozi wange. __________________________________________ ________________________ ERINNYA
KIKI EKIDDAKO? Oluvannyuma lw’okukkiriza Yesu ng’Omulokozi wo, tukukuutira okufuna ekkanisa ekuli okumpi gy’oyinza okukung’aniramu. Nga bw’onoonya ekkanisa, saba nti Katonda akuyambe ofune ekkanisa ejja okukuyamba okukula ng’Omukulistaayo n’okwongera okuyiga ebikwata ku Katonda ne Baibuli. Wabula, muteekwa okukulira mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. 2 PEETERO 3:18
OLUNAKU
KATONDA TAJJA KUKULEKA Katonda tali nga muntu ajja okukwagala nga omaze kweyisa bulungi. Katonda amanyi nti totuukiridde. Katonda ayagala weesige nti Ye akukutte n’akunyweza nnyo okusinga ggwe bw’oyinza okumwekwatako. Katonda mwesigwa, era akukkirizza ng’omwana We, era talirekera awo kukwagala n’okukufaako. Singa olangirira mu lujjudde nti Yesu ye Mukama n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa. ABARUUMI 10:9 Mbagamba mazima nti abo abawuliriza obubaka bwange ne bakkiriza mu Katonda eyantuma balina obulamu obutaggwaawo. Tebalisalirwa musango ku lw’ebibi byabwe, naye bamaze okuva mu kufa okuyingira mu bulamu. YOKAANA 5:24 Naye bino biwandiikiddwa bwe mutyo mweyongere okukkiriza nti Yesu ye Masiya, Omwana wa Katonda, era nti olw’okukkiriza mu ye munaaba n’obulamu olw’amaanyi g’erinnya Lye. YOKAANA 20:31
NewLife FUMIITIRIZA KU BIBUUZO BINO! Kiruubirirwa ki eky’enkomeredde n’amakulu eri obulamu bwange?" Kiki ekimbaako nga nfudde? Katonda kituufu anjagalira ddala? Ekibuuzo ekirala ekinene kye weetaaga okufumiitirizaako kye kino nti:
KIKI KYE NZIKIRIZA KU BIKWATA KU YESU?
Weefunire app ya NewLife ku ssimu yo eya seereza (smartphone) okwekenneenya ebibuuzo bino n’ebirala bingi. Nnyangu okukozesa. Tandikira awasookerwa otunuulire amasomo nga Okubeerawo kwa Katonda, Ekiruubirirwa ky’Obulamu, ne Amazima kye ki? Oba oyinza okugenda butereevu ku kitundu ekiyitibwa Mbuulira Ebisingawo gy’ojja okusanga amasomo nga Yesu Kristo, okukkiriza, ekibi n’okusaba.
FUNA APP EYIYO LEERO!
WWW.NEWLIFE.BIBLE
LUGANDA • UGANDA • 2020
www.sharewordglobal.com
Era okuyita mu app eno, oyinza okusoma baibuli enzijuvu eyitibwa Holy Bible mu nzivuunula ya baibuli eyitibwa New Living Translation ennyangu okusoma buli lw’oyagala, buli w’oba oli.